TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwami wange lwaki yeesiga omukazi gw’akola naye !

Omwami wange lwaki yeesiga omukazi gw’akola naye !

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

Omwami wange tanneesiga naye alina omukyala gw’akola naye y’amanyi buli kintu kye. Kati mpulira olugambo nti amwagala era nange nkiraba kubanga omukyala ono ne bwe gubeera mukolo awaka ewaffe y’agula ebintu era y’asalawo ku buli kintu. Ssenga ndi mukyala mu maka oba ono ye mukyala. Omukyala ono mukulu nnyo ku nze nange mutya okumugambako kubanga alinga maama wange.

Ssenga1 703x422

Mwana wange bw’olabanga omusajja oba omukyala ng’alina gwatwala nga wa njawulo kyokka nga ne mu bintu eby’omu maka y’asalawo olina okwebuuza lwaki.

Abasinga beebulizabuliza mu mukwano naye ddala oyo gw’ayita omukwano nga muganzi we.

Ate ennaku zino abakyala abakulu balina omuze okubuzaabuza abavubuka. N’ekirala n’abasajja abaagala ssente nabo beefunidde abakyala abakulu.

Kati abasajja abamu olufuna ku ssente kibeera kizibu omukyala ono okumufuga era ekivaamu mukyala kutandika kufuga maka ga muvubuka oluusi n’amaka okufiira ddala.

Olina okwebuuza lwaki obuvunaanyizibwa mu maka tabukuwa n’abulekera omukyala ono. Nze ndaba ng’ono ye yafuuka omukyala mu mbeera y’amaka gammwe.

Sigaanyi ayinza okuba nga mukwano gwe naye ogwo omukwano guba gugenze wala okutuuka kwekyo. Nsuubira olina abantu abakulu abasobola okwogera n’omwami wo ku nsonga eno oba ye agaanyi okuwulira ky’ogamba.

N’ekirala weetegereze embeera oba enneeyisa y’omwami wo n’omukyala ono. Akyuse mu mbeera z’amaka? Atwala obuvunaanyizibwa mu maka.

Naye ono omukyala omukulu ndowooza alina kyanoonya mumaka gammwe. Naye n’omwami wo olina omugambako ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...