TOP

Obuvunaanyizibwa butuuse okunnema

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

NNINA ekizibu bannyinaze banneesinga okwogera n’abaana baabwe abawala naye abawala bakuze, bw’obayita obabuulire ku nsonga ez’okukyalira ensiko tebasobala kukkiriza kubalaba. Era baagaana kati obuvunaanyizibwa mbukoze ntya?

Ssenga1 703x422

Bw’oba ng’abaana bano tobadde nabo, nga bakulaba nga ssenga ate ng’ogezaako okubeera mukwano gwabwe kiba kizibu okutandika okwogera nabo ku nsonga nga zino. Naawe weeteeke mu mbeera gye balimu.

Oli ssenga naye tebakumanyi bulungi ng’obagamba okwefungula obalabe oba abasike! Era y’ensobi eriwo ennaku zino.

Bassenga babeera waabwe tebakyala kulaba ku baana baabwe. Omwana bw’avubuka ne balowooza nti banaatandikira awo okumuyamba ekitali kyangu.

Bw’oba oyagala okuyamba abaana bamwannyoko beera mukwano gwabwe okuva nga bzto. Edda bassenga kye baakolanga, nga bakyala okulaba ku baana.

Ate oluusi nga babeera kumpi kale nga n’omwana basobola omusindika mu luwummula okulaba ku ssengawe.

Naye kaati tekisoboka. Bassenga era oluusi abaana babagaana mu kwanjula ne baleeta abakyala abatali bassenga.

Ky’olina okukola kukwana mwana ono bw’oba oyagala akkirize by’olina okukola nga ssenga.

Ate bw’agaana mwesonyiwe kubanga tekiyamba kwesiba ku muntu nga takwagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...