TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange alina omuzze gw’okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo!

Mukyala wange alina omuzze gw’okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo!

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

MUKYALA wange alina omuzze gw’okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo, ate bw’agenda alwayo nnyo kumpi ssaawa ssatu nnamba ate ng’amaduuka gali kumpi. Ngezaako okugula buli kintu nga nkomawo naye era afuna akasonga akamutwala ku dduuka. Nkole ntya?

Ssenga1 703x422

Saagala kumugoberera kubanga muntu mukulu era amanyi ky’akola. Omukyala ono olina okwogera naye bulungi ku nsonga eno.

Kubanga omukyala yenna okubeera ebweru ng’omwami ali waka awatali nsonga si kirungi n’akamu.

Abakyala abasinga kino tebakimanyi era tebafaayo ku ssaawa ze babeera ebweru.

Ate weewuunye omwami bw’ayingira ggwe ng’omukyala olina okumwaniriza era n’ogezaako okubeera awaka kubanga obudde obwo bwa mugaso nnyo eri omwamiwo era n’abaana bo.

Kati bw’ofuluma ennyumba nga munno akomyewo ate n’omalayo ebbanga sikitegeera bulungi.

Mwana wange gwe mwami awaka era oli waddembe okugaana omukyala ono okufuluma awaka ng’okomyewo.

Ate akikola kiro kitegeeza nti ky’agenda okukola tayagala balala bakirabe. Oba ng’awaka asiibawo lwaki tafuluma ng’obudde bulaba oba emisana naye n’asalawo okuva awaka nga wooli. Kitegeeza nti ekimutwala kirina kubeerawo kiro.

Ono omukyala aleme kukujooga kubanga abamu bw’alaba nga tomugambako ng’agufuula muze.

Oba alina omusajja gw’agenda okulaba ku ssaawa ezo? Mugambeko akikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.