TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Akabi k’omusajja okutabaalira mu bawala abato

Akabi k’omusajja okutabaalira mu bawala abato

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

OMUZE gw’abasajja okuganza abawala abato be batuuse n’okuzaala guluddewo. Abeenyigira mu muze guno balina ensonga zaabwe.

Blackcoupleinlovee1312344839290 703x422

Abasajja bagamba nti abawala bano balina engeri gye babacamulamu ne baddamu endasi, oluusi ekitabaawo nga bali n’abakazi abakulu.

Ekirala bagamba nti abawala bano baba n’obudde bungi bwe bawa abasajja kubanga omusajja asobola okumusisinkana essaawa yonna ne wonna w’amwagadde, oluusi ekiyinza obutabaawo ku bakyala abakulu, kuba beekwasa emirimu.

 Endabika y’omuwala n’omubiri gwe biba biteeka omusajja mu mbeera y’obwagazi okusinga mukazi wattu asooka okukekejjana n’oluusi okusooka okwekwasa obusongasonga ebinyiiza omusajja.

 Okuggyako ng’ogudde ku muyaaye oba ennaku zino be bayita abakuuzi, naye abawala bano tebabeera kizibu nnyo eri omusajja mu kumupeeka ensimbi, kubanga ebyetaago byabwe biba bitono bw’obigeraageranya n’omukazi omukulu.

 Abasajja baagala nnyo embeera z’okubatega obumasu n’okubafaako oba kiyite okubasuusuuta ate nga kino kuzannya n’akwagala mu bawala naddala ennyambala, obuyonjo, amannya ge bayita abasajja nga bbebi, hanni n’amalala.

OBUZIBU ABASAJJA BWE BOOLEKEDDE

Omusajja akyatabaala mu bawala abuto manya waliwo embeera z’oyolekedde eziyinza okukuviiramu akabaate okugeza;

 Olowooza omuwala ono omuliko wekka, talinaayo bwe benkanya myaka? Ajja kukumalira obudde bungi ate nga tolina ky’ogenda kumufunamu.

Obuyonjo bw’abawala bano oluusi bubeera bwa ku ngulu naye ng’ebitundu bye ebyekyama tafuba kubiyonja ekiyinza okukuleetera okufuna endwadde ate n’oziwereba mukyalawo.

Abawala abamu baba n’akatijjo ekiyinza okuviirako mukyala wo okumanya ebigenda mu maaso okukkakkana ng’amaka gasasise.

 Ojja kwesanga nga ssente ze wandikozeemu ebizimba amaka gammwe ate ozisaasaanyiza ku muwala ono, ate nga tojja kumufunamu, kubanga alina n’abalala abamuganza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako