TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebiriikiriza obuggya n’ebbuba mu baagalana

Biibino ebiriikiriza obuggya n’ebbuba mu baagalana

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

KUMPI buli omu yali alozezza ku bukambwe bw’ebbuba n’obuggya mu mukwano. Era obufumbo n’omukwano oluusi gusattulukuka olw’ebbuba n’obuggya ebisukkiridde.

Ready 703x422

MPULIRIZA NAAWE: Omusajja ng’alina by’agamba munne amunyiigidde.

Wadde waliwo abagamba nti bo baazaalibwa tebalina bbuba oba obuggya, naye bano batono ddala. Ndowooza n’Abaganda kye baava bagereesa nti, ‘Atabubira nsiko ye taliira..”

Nga balinga abakkaatiriza nti ekintu ky’omanyi nti kikyo, oteekwa okukikugira abalala okukitwala. Naye nga ddala kifuufu omuntu akububira y’oyo abeera akwagala? Era oyo atakububira kiraga nti takwagala? “Nze mukyala wange simuwa gaapu ate naye ambubira.

Okwewala okumuteeka ku bunkenke buli kiseera, nfuba okwewala embeera eyinza okumuleetera okundowooleza ekintu kyonna ekyekuusa ku bwenzi. Awaka nnyingira ku ssaawa 5:00 nga be nnina okusisinkana bonna mbamalirizza era tewaba bankubira ssimu nga ntuuse awaka.

Obwo obudde buba bwa mukyala wange n’abaana era sibeera na bigwa bitalaze na bakazi balala.

Bino bye beekubya essimu nti mpeerezaayo tulansipooti oba nti afunye ekizibu, sibiwuliriza era bw’alemerako ng’essimu ngiggyako, kuba byandeekerako obuzibu.

Mu kiseera ekyo nga ne bwe nnyingira ekinaabiro, omukazi asigala ataganjula essimu yange okulaba abankubidde, ne be nkubidde.

Ye nga k’asanga nga waliwo omukyala ankubiddeko emirundi egiwera, ng’oyo ajja kumukubira amuwalabule.

Oluusi nabanga nina okubakubira ne mbeetondera kubanga abamu baabanga bakasitoma bange be nguza engatto. Era ssinga saali musajja nnyo, obufumbo bwali butuuse okunnema,” Bwatyo, Sabiiti Mukiri ow’e Nansana bw’agamba.

“Omwami wange kata annemese obufumbo, lwa bbuba eriyitiridde,” Irene Kabonera e Nansana bw’agamba.

Agattako nti, “Yansanga nkola ne tufumbiriganwa naye ng’ankubira buli kiseera n’ambuuza kye nkola, bendi nabo, ate nga bwe nkomawo n’ekintu kyonna kye neegulidde gamba ng’olugoye, engatto oba ensawo ng’atandika okuyomba nti waliwo omusajja akingulidde.

Naye ekyasinga okunzigya enviiri ku mutwe, lumu nagenda ne nkola enviiri nzenna ne njaka, naye mu kifo ky’okumpaana nga bwendabika obulungi, yasitula lutalo.

Oluvannyuma lwa wiiki yansanga ntudde nga enviiri nzisiigamu ebizigo, n’ampitako, teyannyega ne twebaka. Naye oba yazuukuka ssaawa mmeka, kuba nagenda okuzuukuka ng’enviiri zange yazisazeesaze n’ekikebe ky’ebizigo nakisanga mu luggya.

Mba nkutama okulonda akakebe k’ebizigo ne neekwata ku muti gw’omuyembe nga guseerera kumbe ng’ebizigo byonna yabikukumbye n’abimala mu kakebe ng’abisiiga omuti byonna n’abimalamu.

Twayomba n’annangira nga bwe nnina abasajja abalala kye nva neenyiriza bandabe nti era be bampokera omusimbi. Wabula era ng’omukazi eyakuzibwa nakkakkana ne tuteesa okutuusa bwe twagonjoola ensonga zaffe.”

EBIKA BY’EBBUBA

Waliwo ebbuba ebbi n’eddungi.

Ebbuba eddungi liruηηamya. Waliwo ebbuba we lyetaagisa ng’omuntu abubira munne mu ngeri ennungi naddala nga ligenderera okukuuma omutima gw’omukwano mu bufumbo bwammwe.

Era ebiseera ebisinga okububira omwagalwawo kiraga nti ofaayo eri obufumbo bwammwe n’okubukuuma obutalumbibwa bantu balina myoyo mibi abalina bigendererwa ebyokubutabangula.

Ebbuba ebbi ligenderera kubwonoona. Ebbuba ebbi liyinza okubeerawo nga ne bw’ogezaako okukakasa munno nti oyagala ye yekka, asigala tamatidde nga buli gw’akulaba naye amulumba n’amuvuma oba okumukolako obulabe.

Ebbuba ery’ekika kino litandiikiriza mpolampola ng’oli yeegeraageranya n’abantu abalala ekimuleetera okwenyooma, okuwulira nga munne atamwagala, okwesaasira ng’ayagala bamukwatirwe ekisa n’obutamwesiga.

Omuntu ow’ekika kino ne bw’okola byonna by’ayagala, asigala tayinza kumatira. Ono ebiseera ebisinga ayinza n’okulayira nti bwe nnemererwa waakiri nnyonoona.

Ebbuba ery’ekika kino litabangula omukwano era nga byebimu ku bikyasinze okuviirako obutabanguko mu maka ekivaamu okuyombagana, okulwanagala n’oluusi okuttiηηana.

EBBUBA LITEGEEZA MUKWANO?

Atakububira takwagala era olina okubeera n’ebbuba oba obuggya eri omwagalwawo naye bwe bijjamu okutta, okuloga , okutemagana embale n’ebirala, lye tuyita ebbuba ebbi era ebbuba lisobola okubaleetera okwawukana obufumbo ne busasika.

Wabula olw’obutonde, omuntu bw’aba anyiize abeera anyiize era y’alina okwekomako. Olw’obusungu obungi ebbuba likuleetera okugaana okukola by’olina okukolera omwagalwawo, abamu abeera tayagala na kumutunulako oba okumuliraana mu budde obwo.

Abalala batuuka n’okwejjusa ekyamwagaza omuntu oyo nga tayagala kuddamu kumulaba n’abalala nga buli bw’amulaba nabo amutabukira n’ebirala.

Ate teri ayagala kumwagalira mwagalwawe era abamu atuuka ekiseera nga takyasobola kumwesiga n’amuta oba okumwesonyiwa mu birowoozo, ng’amulaba bulabi, nga byonna by’akola tebikyamuluma.

Mu mbeera eno abeera takyakulaba oba okuyisa nga bweyali akuyisa, omukwano gw’akulaga gwesala, bye yali akukolera ng’omwagalawe abikomya.

Abeera takyayagala kwegatta naawe era abamu batuuka n’ekiseera ne baawula ebisenge era wano w’omanyira nti yakuggya dda mu birowoozo bye naddala ng’amaze okukakasa nti olina omuntu omulala.

Wabula mu mbeera eno olina okubaako gw’obuulirako kuba bw’oba tofunye buyambi, oyinza n’okutandika okuloga sinakindi okutta waakiri mwenna mumufi - irwe.

BIKI EBIRIIKIRIZA EBBUBA

Obuntu obutonotono ng’okukukuta n’essimu n’ogikwatira mu kaabuyonjo, mu bitooke, mu kisenge n’awalala.

Oluusi oli mu buliri ne munno naye eno oli ku ssimu okubira balala oba okunyumya nabo ate ng’olaga nti munyumirwa okufa obufi , obeera otandise okuliikiriza ebbuba era obujulizi bugenda bwezimba mpolampola.

Olugambo buli ky’owulidde n’okizimbulukusa sso ng’oluusi buba bulimba naddala obuva mu bantu abaagala okubaawukanya nabwo busobola okuliikiriza ebbuba n’ebirala.

ATABUBA TABA NA LAAVU?

Mukisa agamba nti kizibu okubeera n’omuntu gw’oyagala naye nga tofaayo ne bw’aba alina abalala b’aganza. Kino kya butonde, lwakuba nti abamu bakiyitiriza n’atuuka okuteebereza munne okuganza buli muntu gw’amulaba naye, oluusi ate nga giba mikwano gye.

WEEKOMAKO OTYA?

Mukisa annyonnyola nti ebbuba bulwadde bwa bwongo era nga buli muntu abulina era omuntu ali mu mbeera eno, olina okulaba nti by’oyitamu fuba okulaba ng’obibuulirako omuntu omulala gwe weesiga kuba kiyamba okuwewula omutima n’otakosebwa nnyo mu bwongo.

Ekirala ensonga eyo tuula ne munno mugyogereko, kasita kitegeerekeka nga waliwo n’obujulizi, buly’omu akimanye ng’embeera tennasamba ddagala oleme kufa kisiiri.

Essimu yo ebeere yiyo n’eya munno gimulekere, togikebera ng’onoonya b’ayogera nabo.

Nga mugenda okusisinkana oba nga mutuuse awaka , essiimu muzeesonyiwe bulyomu awe munne obudde Ate bw’omanya nti essimu munno emunyiiza nga muli mwembi, tokukuta nayo. Totereka bubaka bwa mukwano bwe bakuweereza, bw’evuga gikwatire awo waali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo