TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga, mukyala wange alemedde ku ddogo

Ssenga, mukyala wange alemedde ku ddogo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2019

SSENGA, mukyala wange aloga nnyo era mpulira mukooye. Mmaze ebbanga nga mmugamba ku nsonga eno naye tawulira. Namugamba nti nze okumwagala saamuloga naye agaanye okukitegeera. Ankoze ebintu bingi naye sikyuka kubanga ekisookera ddala siri mwenzi era ye mukyala gwe nnina yekka. Kino nakisalawo kubanga saagala kubeera na bizibu mu maka gange. Ssenga nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

MWANA wange weebale ebbaluwa eno. Abakyala n’abasajja bangi ennaku zino balina omuze gw’okuloga ng’ate baatandika mpola naye ne gufuuka omuze.

Bangi tebamanyi nti ssente zigendera bwereere ate nga n’abaana basobola okuyiga empisa zino. Omuze gw’omuntu bwe guba gukuze kiba kizibu okugumuggyamu.

Abakyala bangi balina endowooza nti omusajja olina okumuloga okukwagala oba obutakulekaawo. Abakyala bonoona ssente nnyingi mu kuloga.

Gezaako okwogera n’abantu abakulu bagezeeko okwogera naye. N’ekirala oyinza n’okugaana okulya emmere awaka olabe oba asobola okukyuka. Baana bange abawala muve mu kuloga kubanga oba weeroga wekka.

Bw’olowooza nti omusajja mwenzi ate nga tayenda ogenda okulaba ng’alaba obubonero obulaga nti ayenda. Kati musajjawattu ono tayenda naye omukyala amuloga.

Teri musajja ayagala kumanya nti omuloga, kale mwegendereze era okuloga mukuveeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?