TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Emyaka giweze 16 nga ssiraba taata wa mwana

Emyaka giweze 16 nga ssiraba taata wa mwana

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

EMYAKA gye mazze ku nsi emirembe n’essanyu nfunye bitono ddala. Katonda simwevuma kuba ye yakkiriza n’enzaala omwana omu yekka ku nsi kyokka ebyembi omwana gwe nnazaala teyasobola kukula bulungi ng’abaana abalala.

Nama 703x422

Namuli ne muwala we

Nze Prossy Namuli, 52, nga mbeera Namungoona Lubya 11. Nnazaala omwana wange Priscilla nga mu kiseera kino alina emyaka 18.

Nnamuzaala mulamu bulungi nga talina buzibu bwonna naye bwe yaweza emyaka 6, n’alwala omusujja era bwe nnamutwala mu ddwaaliro ne bamuwa obujjanjabi naye teyasobola kutereera.

Omusawo bwe yawa omwana eddagala teryamuyamba wabula yeeyongera kuba bubi era n’agenda okulaba ng’atandise okuzoola amaaso ne ntya nnyo.

Nnamutwala mu ddwaaliro e Mengo ne bamukebera ne bahhamba nti omusujja gwe yali afunye gwali mubi nnyo.

Bahhamba nti amaaso gayinza okwonoonekera ddala. Banfunira omusawo akola ku baana n’ahhamba nti obuzibu bwava ku ddagala lye baamuwa eryali eryamaanyi okusukka ku mubiri gwe.

Omusawo yampa eddagala ne ndiwa omwana era n’afunawo enjawulo. Waayitawo emyezi esatu omwana n’atandika okweyonoonera nga buli kimu ekijja takiwulira.

Nnamutwala mu ddwaaliro e Lubaga abasawo ne bahhamba nti omwana yalwala omusujja gwa mulalama nti era gwe gumuviirako okubeera mu mbeera bwetyo.

Nnamala ebbanga lya mwezi mulamba ku kitanda nga ndaba tewali njawulo ne muggyayo ne mutwala mu ddwaaliro e Mulago.

Bwe nnamutuusaayo ne bamukebera buli kimu ne bantegeeza nti alina ekizimba ku bwongo awamu n’amazzi mu mutwe nga yeetaaga kulongoosebwa.

Bansindika mu ddwaaliro lya Cure children hospital e Mbale gye baamulongooseza ne bamuteekamu akapiira mu mutwe okusobola okutambuza amazzi agaalimu agafulumize mu bitundu ebyekyama.

N’okutuusa leero akapiira ke baamuteekamu akyakalina naye buli lukya kati yeeyongera kuba bubi kubanga eyali atambula kati yazihhama.Takyasobola kutambula wabula yeewalulira wansi.

Ekisinga okunnuma omusajja gwe nnazaalamu omwana ono yamunsuulira ng’alina emyaka ebiri era lwe yasembayo okumulaba n’okutuusa leero.

Bwe yawulira nti omwana yafuna obulwadde teyaddamu kukwata ssimu zange.

Nnamuwawaabira ku poliisi ne bamukwata n’atandika okumpanga emitwalo munaana buli mwezi ng’aziyisa mu bbanka naye era oluvanyuma yalekayo okuzimpa.

Nnatuuka okutwala omwana mu ddwaaliro e Mbale bamulongoose ne bansaba obukadde 15.

Nnagezaako okumusaba ssente ezijjanjaba n’agaana era okuva olwo siddangamu kumuwuliza.

Mbonyeebonye n’omwana ebbanga lyonna nga sirina muntu annyambako ate nga nange ssente sizirina.

Mu kiseera kino omwana wange akuze. Ntya okumuleka awaka ntambule okunoonya ssente kubanga abatamiivu basobola okumutuusako obulabe ng’ate tasobola kwerwanako.

Ennyumba mwe nsula nayo ennemeredde okusasula kubanga sirina mulimu gwonna mwe nzigya ssente zisasula nju ate nga n’ekyokulya kizibu nnyo gyendi n’omwana wange.

Nsaba abazira kisa bannyambe naddala ku nsonga y’ennyumba. Amasimu g’omusajja ngakubako naye bandaga nti kirabika yanzigyako era sikyasobola kumufuna.

Nagendako ku Mukwano gye yali akolera ne bahhamba nti nabo tebamanyi gye yadda. Asobola okwogerako nange nkubira ku 0706604314/0774836018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.