TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja amalako weepimire ku luyimba

Omusajja amalako weepimire ku luyimba

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera oluyimba we luggweerako, olwo ng’omanya nti omalako.

69403329063enmasterfile 703x422

Sigamba zino ennyimba za Kafeero ez’eddakika 30, nedda ηηamba ennyimba naddala ez’Abazungu ez’eddakiika essatu.

Naye bw’oba ng’osobola okweyongerayo, tewali buzibu ssinga n’omukazi gwe mwegasse naye aba akyanyumirwa.

Bino bye byazuuliddwa mu kunoonyereza okwakoleddwa Polofeesa Darla Burke ne Alana Biggers ab’omu Amerika era ne bifulumizibwa ku mutimbagano gw’ebyobulamu ogwa http://www.healthline. com.

Ebyazuuliddwa mu kunoonyereza kuno bye byanukudde okutya okubadde ku mitima gy’abasajja abangi nga beebuuza oba bamalako.

Kubanga tewabadde kipimo kiraga omusajja amalako bwalina kusamba kapiira. Era nga kino kireetera abatunda eddagala ly’ekinnansi okubalyangako ssente nga bawoza nga bwe babaguza eddagala ly’amaanyi g’ekisajja.

Kati nga tewali musajja amanyi oba nga eddakiika z’amala mu kyeso z’ezo eziraga nti amalako.

Okunoonyereza kuno kye kwavudde kuyamba okubakkakkanya emitima.

Abakugu bano era baagambye nti abo abalowooza nti omusajja okulwa ennyo mu kyeso kye kiraga nti amalako beerabira nti okwegatta nagwo muzannyo ogulina okunyumira abaagalana bombi.

Kale okukalirira munno (omukyala) nga tomalaamu kagoba obeera omulumya ate nga yandibadde anyumirwa.

Ate era ne bagamba nti abasajja abalowooza nti bateekeddwa kumala ssaawa nnamba nga tebannamalamu kagoba, bakyeteekamu bweteesi kubanga balowooza nti olwo baba beddizza emitima gy’abakyala bano gireme kulowooza ku basajja balala.

Ate era nti n’okulowooza nti buli lw’oyingira mu bbakuli y’omukazi oba omuwangudde. Kale kye bava beegwanyiza okulwa munda w’ebbakuli eno bawangaalire mu buwanguzi obwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600