TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’okola okwewala ekyeyo okusattulula obufumbo bwammwe

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula obufumbo bwammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula agamba nti tekimuggyaako kuba mufumbo kuba buli kimu baakikkaanyaako ng’agenda okutandika ekyeyo.

Coulple 703x422

Meddie Matovu (Zipper Atafo) ne kabiite we, Asma Uwase nga beeraga omukwano ku kabaga akamu gye buvuddeko.

“ Twakkaanya nnoonye omulimu nga gusobola okumpa obudde ne nkomawo awaka.

Nafuna gwa kukola mu kirabo ky’emmere, era bano banzikiriza okudda awaka buli luvannyuma lwa myezi esatu. Kino nkikoledde emyaka munaana era sirina buzibu bwe twali tukifunyeemu.” bw’agamba.

Agattako nti bakkaanya ne bba Richard obuteggyaako baana baabwe okubasindika mu beηηanda ne bateesa Richard asigale n’abaana ng’abalabirira.

Bagamba nti tebalowooza nti ekyeyo kiyinza okubataataaganya mu mbeera yonna kubanga baateekawo bye balina okugoberera era babitambulirako.

Wabula wadde embeera eno Racheal ne Richard tebagifunyeemu buzibu, ye Kato 27, gwe nasanze mu saluuni emu mu Kampala embeera y’omwagalwa we okugenda ku kyeyo agiwanda lulusu.

Kato okutenda ennaku gy’alimu yakiggye ku kalango ka kkampuni emu etwala abantu ebweru ku byeyo akaabadde ku ttivvi.

Ono olwakalabye n’agamba nti, “ Buli lwendaba akalango mbu batwala abantu ebweru okukola ndaba mulabe wange yennyini..” Ffenna abaabadde mu saluuni twasirise era eyabadde asala enviiri (Mubiru) kwe kubuuza Kato nti; “Ate ggwe atali mu Bawalabu obuzibu obusanga wa okunyiiga ennyo bwotyo?” Kato eyabadde atunuza obukambwe yazzeemu nti omuwala gwe nateekamu ssente zange baamuntwalako lwa byeyo ebyo.

Nange saaludde kwe kwenyigira mu mboozi era mu kiseera kino namwambalidde nti muleke nammwe kwekwasa bantu.

Kato wano we yanyanukulidde nti, “Kuno si kuwaayiriza, kubanga nze essanyu nalimalamu omwaka gumu nga mmaze okukyala mu bazadde ba Sandra n’agenda ku kyeyo era awo omukwano we gwakoma.”

Yagasseeko nti; “Saasooka kukkiriza nga Sandra ambuulidde nti agenda bweru naye olw’okunnemerako nga ankakasizza nga bw’agenda okukola okukyusa obulamu bwaffe akomewo mu myaka ebiri, nakkiriza agende.”

Sandra bwe yagenda ku kyeyo twasooka ne tubeera nga tuwuliziganya bulungi, kyokka oluvannyuma yamutegeeza nti baabagaana essimu era baali baakwogeranga omulundi gumu mu mwezi.

“Kino kyampisa bubi naye nga sirina kya kukola. Wabula twatuuka ekiseera nga Sandra mmuwuliza luvannyuma lwa myezi oba olyawo n’akuweereza kamesegi. Ekyavaamu nga n’essimu kwe nnali mufunira tekyaliko.

Nasooka kulowooza nti osanga yafuna obuzibu kumbe lwali luwenda lwa kunsuulirawo ddala”.

“Bwe nalaba ebbanga lye yali alina okuddirako nga simuwuliza kwe kwesitula ne ηηenda ewa ssenga we.

Kyambuukako bwe natuukayo bwe yaηηamba nti Sandra yali yaakayanjula omusajja omulala, gwe yakwatagana naye eyo ku kyeyo gye yali. Embeera ya Kato etuukira ku baagalana bangi ensangi zino.

Kumpi buli wiiki wabaawo abawala n’abalenzi abatwalibwa ku byeyo mu mawanga ag’enjawulo n’okusingira ddala mu Buwalabu. Abagenda abamu baba bafumbo nga balina n’abaana, olwo omu n’asigaza obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka, oluusi ekitabeera kyangu.

Ekivuddemu bwe bufumbo n’omukwano okusaanawo, kubanga abeera agenze akitwala nti gw’alese awaka kijja kuba kizibu okumwekuumira, so nga n’asigadde awaka akitwala nti kizibu oyo aba agenze okusigala nga yeekuumye.

Edith Mukisa, omukugu mu kubuulirira abaagalana n’abafumbo agamba nti obufumbo si kintu kyangu naddala nga muli mu mukwano gw’ewala gamba ng’abali ku byeyo. Ky’ova olaba nga bangi baawukanye ng’obuzibu buva ku kyeyo.

Mukisa yannyonnyodde nti akabi akasinga okubaawo abagenda ku byeyo babeera abawala n’abavubuka abato abakyazimba obufumbo katugambe baakamala omwaka gumu oba ebiri ng’ebbanga ly’ekyeyo we liggweerako kiba kizibu okuba nga buli omu akyalinze munne.

Embeera y’abafumbo okwawukana ng’omu agenze ku kyeyo wadde abasinga batera okugyesigamya ku bwenzi naye erina ebintu ebirala ebitera okugireeta:

1Obutabaawo kwagala kunywevu wakati w’ababiri.

Obuzibu obusinga buva ku ky’abaagalana omu okugenda ku kyeyo naye nga bakyazimba buzimbi omukwano gwabwe. Noolwekyo kiba kyangu nnyo omu okuva ku mulamwa ng’afunye ekimuwugula.

2 Ebikemo. Ebikemo waliwo lwe bisukka. Okugeza okwagala kw’omusajja naddala mu myaka gy’ekivubuka kuba waggulu, so nga mu biseera bino ate abaagalwa baabwe we bagendera ku byeyo, olwo ne baleka abasajja baabwe kuno.

Kiyinza okuzibuwala omusajja okwekuuma okumala emyaka ebiri n’atabaako gy’ayitira.

3 Empuliziganya. Kino kikulu nnyo mu mukwano. Ne bwe muba nga muli wamu, emirundi egimu kiyinza okubalema okutuukiriza olwo ate watya nga buli omu ali mu nsi ya njawulo! Oluusi bayinza n’okwesanga ng’omu w’afunira obudde obwogera ate munne abeera bbize.

4 Ssente ezitatuuka mu budde. Ssinga eyagenda ku kyeyo alemwa okuweereza eyasigala mu Uganda ssente mu budde n’obungi bw’abeera asuubira, kyangu okuyiiya engeri endala gy’afunamu ssente okusobola okuziba eddibu. Kino kisinga kubeera mu bakazi nga be basigadde wano. Olwo omusajja agenda okudda nga baamutikkiramu dda, naye ng’obuzibu bwava ku nsimbi butatuuka mangu oba okuweereza ezitamala.

5 Eddembe lisukka. Emirundi mingi buli omuntu bwaba n’eddembe nga tewali amukuba ku mukono weekanga nti asobola okukola ebitali bituufu. Okugeza ssinga omusajja atuuka ng’awaka tewakyali amubuuza gy’aludde ate nga n’abaana tebaliiwo asobola okwenyigira mu bikolwa ebimuggya ku mulamwa.

6 Eηηanda obutabeererawo bannaabwe nga bagenze ku byeyo. Okugenda ku mawanga tekutandise kati kwava dda kyokka edda omuntu bwe yagendanga ku kyeyo katugeze omwami nga y’agenze, abooluganda baasigalanga bafaayo okulondoola omukyala we n’okumulabirira ekitaliiwo leero. Kino kiwa asigadde wano ebbeetu okukola kyonna ky’ayagala.

7 Enkyukakyuka y’embeera mu byenfuna. Embeera eno esinga kubaawo ng’omukyala ye yagenda ku kyeyo kuba abamu bw’afuna ku ssente n’asinga omusajja atandika okumulaba ng’atakyali wa ddaala lye. Era abamu bagamba nti omukazi bw’alinnya ku nnyonyi ng’omusajja tagirinnye alaba ng’omusajja wa wansi nnyo era emikisa gy’okumusuulawo anoonye owa kiraasi emugyamu giba mingi.

8 Obutakkaanya ku biruubirirwa by’ekyeyo wakati w’abaagalana. Ekyeyo kyetaaga okusooka okukkaanyizibwako wakati w’ababiri, okugeza ne mukkaanya ku bbanga munno ly’alina okumalayo, ssente ze mugenda okukola zaaki katugambe kugula poloti, empuliziganya bwe munaagitambuzangamu, abaana bwe mugenda okubakuuma bwe babaawo n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600