TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Empuliziganya kikulu mu bufumbo ng’omu ali ku kyeyo

Empuliziganya kikulu mu bufumbo ng’omu ali ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya abantu beeyiwa mu ofi isi z’abo abatwala abantu ebweru ku kyeyo, basobole okugenda ebweru bayiiye obulamu.

Luck 703x422

Wabula bwe muba musazeewo omu agende ku kyeyo, waliwo ebintu ebikulu bye muteekeddwa okussaako essira n’okukkaanyaako, okwewala omukwano gwammwe n’obufumbo okusigala nga bitambula bulungi. Muteekeeko ekkomo.

Ekyeyo kirungi okugendako nga waliwo ekkomo lye mutaddewo, katugambe oba emyaka etaano nga bwe giggwaako tabiddamu.

Naye abamu baagala n’abeera ng’atambuza ekyeyo kyenkana obulamu bwe bwonna ng’ate bw’atambuzaamu n’obufumbo. Kino kiba kizibu okutuukiriza, naddala omukazi nga y’akuba ekyeyo, kubanga abasajja batono abayinza okugumira embeera y’obwomu.

Empuliziganya nsonga nkulu. Mutunuulire nnyo empuliziganya okugeza musobola okuteekawo obudde naddala mu kiro mwenna bwe mubeera nga munnyuse era empuliziganya ebeere ya buli lunaku.

Noonya omulimu ogukukkiriza okubeera ng’odda awaka mu bbanga ettonotono. Kiba kirungi n’onoonya omulimu nga gukukkiriza okudda awaka n’olaba ku bantu ba famire yo n’oddayo nga buli luvannyuma lwa myezi esatu oba etaano odda awaka.

Mubeere n’ekigendererwa. Bw’oba ogenda ku kyeyo mubeere n’ensonga enkulu lwaki ogenda ku kyeyo.

Katugambe mwagala kugula ttaka, ssente bwe ziwera ez’ettaka ebbanga ne bweriba terinnaggwaako ng’odda awaka.

Abaakayingira obufumbo mwewale ekyeyo. Omukwano gw’ewala gunyuma nga gumaze okuguma, noolwekyo abatandika obutandisi omukwano si kirungi kwereka omu n’agenda ku kyeyo okuggyako ng’obufumbo obukooye. Temweggyaako buvunaanyizibwa bwa baana.

Abafumbo abasinga naddala abakyala bw’atuuka okugenda ku kyeyo ng’akwata abaana ng’abatwala ewaabwe.

Kyetaagisa bw’oba ogenda, omusajja omulekere obuvunaanyizibwa bw’abaana abeere nabo, kijja kukendeeza ku mikisa gy’okwenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600