TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obwavu bwamugabisa omwana wange ew’omusajja omulala

Obwavu bwamugabisa omwana wange ew’omusajja omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2019

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza 27.

Kola 703x422

Ndi mukubi wa bivuga mu bayimbi ba kadongo kamu. Mu 2014 nnakwana omuwala gwe nasisinkana e Kakiri. Yali abeera mu bakadde be kyokka bwe nnamusaba okumuwasa n’agaana.

Olwokuba nnali mwagala nnyo, nnakkirizza ne mwagala ng’ava mu bakadde be. Mu kiseera ekyo nnalina ku ssente nga buli kimu ky’ansaba nkimuwa.

Namukolako okunoonyereza ne nkizuula nti alinayo abasajja abalala. Waayita ennaku mbale n’ahhamba nti ali lubuto.

Yadde nnalina ssente, nagaana okumuwa obuyambi kyokka ne wabaawo omusajja eyamulabirira okumala emyezi 9 kuba nze nnali sikakasa nti olubuto lwange.

Yazaala omwana muwala ng’anfanaana. Nnamwetondera ne mubuulira lwaki nnagaana okulabirira olubuto .

Mwana muwala yanvuma ate nga ne ssente zikendedde era okukakkana ng’omwana amuwadde eyalabirira olubuto. Nnagezaako okwogera naye n’agaana ng’agamba atalina ssente tafumita lindaazi.

Omwana kati alina emyaka mukaaga ng’era bw’omulabako yammalayo ekikakasa nti wange .

Waliwo abang'amba nnoonye ssente tugende mu musaayi kuba omukazi ayinza okuba nga yantega lubbobbo omwana n’anfaanaana naye nga si wange.

Olwokuba nayavuwala, sirina wentandikira. Omuwala yandanga nti ebyabasajja yabikoowa so nga yali mutambuze atalina kagaana mu kamwa ke. Ssaamanya nti nange yali anjagalako ssente.

Bwe nnalemera ku nsonga, yantiisatiisa okunzita era n’apanga n’abavubuka bankube ekyampaliriza okudduka.

Bwe kiba kituufu ng’omwana wange, ne bwaliba akuze alinnoonya, omusaayi gulondoola.

Nsaba abakazi bakomye okucanga abasajja kuba abamu batuuka n’okuggyamu embuto nga tebamanyi bannyini zo batuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600