TOP

Ssenga nnina amaanyi matono

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

Mwana wange obusajja obutono n’obumpi bw’ogamba ani eyabupima? Ekikulu kya kukola mulimu gwabwo.

Kiringa okulaba okutu okunene n’okutono, gombi gawulira kye kimu. Ekisooka ky’olina okwebuuza kwe kuba nti oba osobola okwegatta n’okuzaala.

Abasajja bangi ennaku zino balowooza nti balina obusajja butono kubanga bawulira nti waliyo abasajja abalina obutono nga busobola okukyuka.

Ssinga weeteekamu ekirowoozo ekyo, otandika okukikkiriza nti bwekiri era n’okwegatta kufuuka kizibu lwa nsonga abamu balowooza nti bw’obeera n’obusajja obutono tosobola kumatiza mukyala.

Kale mwana wange tosobola kubukyusa naye nga osobolera ddala okumatiza omukyala era osobola n’okuzaala n’okufuna amaanyi.

Buli musajja okuggyako nga yazaalibwa yatomerwa endiga, asobola okufuna amaanyi g’ekisajja era asobola okuzaala.

Ebirowoozo bye tuteeka mu bwongo binafuya embeera gamba nga ey’okwegatta ne bidda ku mbeera ggwe gye wateeka mu bwongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogo 220x290

Lwaki saagala kwegatta?

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala...

Ssengalogo 220x290

Mukyala muto alulumba omukulu

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba...

Babirye1703422 220x290

Kkooti egattuludde Judith Babirye...

OMUBAKA Paul Musoke Ssebulime 45, yeegaanyi omwana wa Judith Babirye n’agamba nti ye talina mwana yenna mu Babirye....

Unit8 220x290

Enjawulo etabudde Aganaga ne Chris...

NGA tegunnawera mwaka ng’abayimbi Aganaga ne Chris Johnz batadde emikono ku ndagaano ey’okukolera awamu, baawukanye...

Gd1 220x290

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako...

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January