TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga z’omukwano, amaaso gansuula ku mwana muwala eyali omulungi ate ng’anyirira okufa nange ne mwegomba.

Untitled1 703x422

Omuwala ono yali abeera Luzira mu bazadde be ngate nange mbeera eno e Kitintale mu bazadde bange.

Omuwala ono nnali namusisinkana ne twogeramu nga abantu era n’ampa n’ennamba y’essimu nange awo we nnamanyira nti ddala mmulina.

Omuwala ono naddayo awaka ne mmukubirako ku ssimu era naye teyankaluubiriza ensonga yazitegeera mangu nnyo.

Wabula yayogeranga agatta ennimi nga ayogera Oluganda n’Olungereza naye ate nga zonna azimanyi bulungi ddala.

Eky’okugatta ennimi tekyandibadde kikulu kubanga nange zonna ennimi nnali nzitegeera bulungi lwakuba nga nsinga kutegeera Luganda kubanga lwe lulimi lwange lwe nnazaalibwamu.

Omuwala ono ekiseera kyatuuka nga takyayagala twogere Luganda olwo nga tukozesa Lungereza lwokka ekintu nze kye nnali saagala kubanga nze nnali neenyumiriza nnyo mu lulimi lwange Oluganda.

Bwe nnalaba ng’akifudde kya buli kiseera okunjogezanga Olungereza nange ne mmugambako nti lwaki tetukozesa olulimi lwaffe n’andaga nti lw’ayagala era agenda na mulembe nange ne mwesonyiwa.

Eby’Olungereza byandibadde bitono naye ekirala buli omuwala ono bwe yasobyanga ate ng’ayagala nze mba neetonda ekintu ekyankaluubiriza wadde nga nnali mwagala nnyo. Nnasalawo okumwesonyiwa ndifuna abalala bwe tukwatagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...