TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yandekera obuvunaanyizibwa bw’abaana kati ndaaga

Omusajja yandekera obuvunaanyizibwa bw’abaana kati ndaaga

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2019

NZE Suzan Nabiryo nga mbeera Kawanda. Nnina abaana bana ng’omukulu nnamuzaala nkyasoma. Gye nnafumbirwa nzaaliddeyo abaana basatu naye mu bugubi.

Come 703x422

Bwe nnamala okuzaala omwana wange ow’obuvubuka, nnasalawo okukola. Nnatandika okutunda emmere mu kibuga nga nguza aba bbaasi.

Eyo omwami wange gye yansangira n’anjogereza bwatyo n’ansaba tubeere ffembi kye nnakkiriza.

Mu kutandika, twali mu mbeera nnungi naye nga omwami wange alimu mukono ggaamu nga ku kameeza alekako 5,000/- nga talina ssente gy’akuwa ng’omusajja bw’awa mukazi we.

Ekyo ssaakifaako kubanga nnalina ssente zange ate nga sagaala kuzaala baana mu basajja ab’enjawulo. Nnaguma kubanga nnali nfunye olubuto. Embeera yali nyangu engeri gye nnali nkola.

Nnatuuka ne nzaala omwana wange owookubiri era ng’omusajja tafaayo wadde okugula obugoye oba okumpa ssente z’eddwaaliro.

Bwentyo nnakwata ssente zange ne ngula obugoye ne nsasula eddwaaliro. Nnatuuka ekiseera nga sikyamusaba ssente wadde okumukiina.

Omwana waffe omukulu bwe yatandika okusoma. Nnamugamba naye n’atafaayo era ne ntoola ku zange.

Nnatandiika okubeera nga nze maama nze taata era nnaweerera abaana bange okutuuka omulimu lwe gwaggwaawo ng’olwo omwana gwe namuzaalamu atuuse mu S3.

Nnamugamba atandike okuweerera abaana be kuba ssente zaali zimpeddeko. Yanziramu nti tamanyi baana kye banaakola kuba talina ssente.

Nnamukambuwalira ne mutegeeza nga bwesigemda kuddamu kukwata nnusu yonna nti mpeerera baana. Yantegeeza nti ajja kulaba.

Abaana nnabatwala ku ssomero era omukulu waalyo ne mugamba nti kitaabwe y’ajja okuvunaanyizibwa ku kusoma kwabwe.

Obuzibu we bwasinga okuva kwe kufuna olubuto olulala kuba omusajja yatabuka n’alwegaana nga n’ezirina okundabirira tazimpa.

Nnamukubira essimu ne mwegayirira ampeeyo ku ssente nyongere mu bizinensi yange n’agaana.

Ekiseera kyatuuka nga sirina wadde kyakulya ne hhenda ewa maama ne mbimuyitiramu era n’amukubira essimu okumubuuza lwaki talabirira baana kyokka teyamuddamu.

Nnatuuka okuzaala nga sirina wadde ekikumi era eddwaaliro lya gavumenti lye lyannyamba mpozzi ne muliranwa okunvuga okuntuusaayo. Baze teyalinnyayo era omwana yatuuka kuweza mwaka nga tamulabyeko.

Omwana yatuuka n’alwala nnyo ne Mutwala e Mulago okumukebera, eyo gye baakantemera nti yalina ekituli ku mutima.

Taata bwe nnamugamba yantegeeza nti eby’omwana tebimukwatako. Nneebuuza obukadde 18 bwe bansaba okumulongoosa gye hhenda okubuggya. Buli lunaku omwana akozesa eddagala lya 20,000/-.

Abasawo bahhamba nti ssinga talongoosebwawo ayinza okufuna obulemu ku mutwe. Nkooye okubonaabona nga awatali taata wa mwana.

Nsaba minisita Nantaba annyambe wamu n’abasomi ba Bukedde. Ennamba yange eri 0759848187 .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600