TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Emiggo, omwengen’enjaga byangoba ku musajja

Emiggo, omwengen’enjaga byangoba ku musajja

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2019

ABAZADDE abasindikiriza abaana baabwe mu bufumbo bayigire kunze.Olunnaku mmange lwe yansindiikiriza mu bufumbo ndifa ndulojja. Nze Event Nayituliki nga nnina emyaka18.

Wano 703x422

Nnafumbiriganwa ne baze nga nnina emyaka 17 wabula abeewabwe w’omusajja nnabalimba nti mpeza emyaka 18.

Kino bakadde bange tebaakikola nga beeyagalidde wabula baanyigirizibwa olw'ebigambo abantu bye baayogeranga nti nze nnadibira ku luggya n'ekigendererwa ky'okubakwanira abasajja baabwe.

Mu buwangwa obwaffe, abanywarwanda beewala omwana wabwe okwogerebwako ebigambo ebinene naddala omuwala nti adibidde ku luggya.

Bwe kityo bakadde bange baayanguwa okunnoonyeza omusajja gwe siryerabira obulamu bwange.

Embaga yange ey'okwanjula yaliwo nga July 14, 2017 era omusajja yasobola okuleeta ebintu ebitonotono omwali ne ssente enkalu 50,000/- ng'akasiimo k'abazadde.

Wadde saafumbirwa mu kawundo kakubye eddirisa naye nnatuuka ekiseera ne nnejjusa nti ssinga nnamanya nandifumbiddwa omusajja gwe njagala Omwami owange yakeeseza mu ddongo ku lunaku lwe nnasitulirako okugenda ewuwe.

Nnalowooza nti osanga kya lunaku lumu wabula yagufuula muze. Ssaayagala kubuulirako bakadde bange ebizibu bye njolekedde kwe kusalawo mbiyitiremu nnaabakyala w'ekyalo eyatuuza omwami wange ate nemba nga alugulidde ku ppata. Yandaga nti enjaga n’omwenge abinywa kyere.

Bino yagattako n’okunkaliga emiggo awatali nsonga. Yahhambanga nti ku ndongo, omwenge, enjaga n'omusajja nnondeko kimu era n’akomba ku erima nga bwatasobola kubireka lwa mukazi. Nnasibamu ebyange n’enzira ewaffe n’olubuto lwa myezi esatu nga nsuubira nti omwami wange aneekuba mu kifuba n’akyusa.

Ekyammala enviiri ku mutwe ye musajja okutumanga abantu ne bahhamba nti sseeyibaala ne gyendi asobola okunkubirayo. Bakadde bange bansaba nguminkirize mmuzaalire omwana nti osanga anankima nzireyo ewuwe.

Bwe nnamala okuzaala ne nkubira baze essimu nga mmusaba obuyambi n’ansekerera nga annangira nga bwenvuze emmotoka ey'emitto.

Mu busungu, nnagenda ku poliisi y'e Lwengo eyannyambako okukwata omusajja n’ansuubiza okumpa obuyambi bwa 28,000/- buli mwezi era poliisi n’emulagira okuzitekanga ewa nnaabakyala. Kino yakikola omulundi gumu gwokka n'okutuusa kati taddangamu kubumpeereza.

Ebyo nnalaba biri bityo ensonga kwe kuzongerayo mu kkooti e Lwengo era omulamuzi n’amulagira okumpanga 40,000/- buli mwezi.

Ndi mu kutya kuba nkimanyi omusajja yeekobaana n’abehhanda okunkubira amasimu agantiisatiisa okuntuusaako obulabe ssinga sidda wuwe kyokka obulamu bwange mbwagala.

Nsaba abawala abali mu myaka gyange bayigire ku nze, basalengawo n’amagezi bwe baba batuusizza okufumbirwa kubanga nze omusajja yansiraanya era sisuubira kuddamu kufuna ssanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi