TOP

Gwe nawa ez’ekyeyo yankasukabweru

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2019

NNEJJUSA olunaku lwe nasisinkana omuvubuka gwe natuuka n’okuwa ssente yange eyammenya ku kyeyo wabula n’amaliriza ng’anfudde kisiimuula.

Ow 703x422

Nze Ramuzey Ssemakula nga mbeera Najjanankumbi. Nakula ne bazadde bange e Jinja era maama yali musuubuzi mu Owino. Eno gye nnalabira omuvubuka eyali atunda engoye.

Ebiseera we namusisinkanira nnali mu S1 naye enkolagana yaffe yagenda ekula okutuusa mu 2014 nga mmaze S4 ne nkola enteekateeka okubeera naye.

Nnava e Jinja ne ntadika okubeera ewa jajjange e Nansana ewannyanguyizanga okulaba omulenzi.

Ekiseera kyatuuka ne nsalawo okutandikira ddala okubeera naye nga nange ntunda ngoye.

Nga wayise omwaka, nafuna ddiiru ey’okugenda e Dubai era munnange ne mmulekera bizinensi. Ebintu tebyatambula bulungi e Dubai era namalayo omwaka gumu ne nzira.

Nagenda okudda nga yatunda buli kimu nga olwo abeera ne nnyina e Kibuye wabula nga tafaananika. 
 
Olw’okuba nnali mwagala nnyo, nnakwata ssente zange ez’ekyeyo ne nzimuwa asobole okutetenkanya ne nsalawo okubeera naye ewa nnyina.
 
Obulamu bwaddamu okutambula kyokka tewaayita bbanga ddene nnazaala n’atandika okumpisa obubi ne nsalawo okudda ewa maama era yannyaniriza.
 
Omuvubuka yankubira essimu ng’ansaba okudda kyokka ne mmugamba asooke afune ewuwe.
 
Mu bbanga ttono yantegeeza nga bweyali apangisa e Masajja. Nnalimba mmange nga bwenzizeeyo ewa jajja n’essimu ne ngiggyako okumala omwakamulamba.
 
Twatandika okutetenkanya ffembi nga tukola mu kibuga kyokka nga nfuna okumusingako.
 
Twaddamu ne twezimba naye nga tayagala kukola ate nga yayingiramu n’omuze gw’okunywa.
 
Yakyukira ddala n’atandika okunkuba nga kwotadde n’okwenda. Bino yabikola emirundi nga ngumye kyokka kyampitirirako ekiro ekimu bwe yankuba n’ankasuka wabweru mu nkuba n’enzigwerako.
 
Olwo lwe lunaku lwe nasalawo okumuleka ne mmulekera buli kimu okuggyako obugoye bwange.
 
Ekyasinga okunnuma kwe kumwesiga ne ntuuka okumuwa akasente kange n’amaliriza ng’anfudde kisiimuula.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...