TOP

Ebbuba ly'olina lijja kulemesa balo omulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

Bw’ogenda ku saluuni n’osalawo okutuula awo nga buli mukyala oba omuwala akola n’omwami wo oba gw’asekera olowooza nti amwagala kirabika bubi.

Nakalembe, ogenda kulemesa omwami waffe okukola. Olina ebubba lingi era tamanyi kyakukola. Omwami waffe akola n’abakyala bangi ate  alina okukolagana nabo kubanga bakasitoma be.

Naye ggwe ate bw’ogenda ku saluuni n’osalawo okutuula awo nga buli mukyala oba omuwala akola n’omwami wo oba gw’asekera olowooza nti amwagala kirabika bubi. Kubanga abakyala oba abawala bagenda kumuvaako olw’embeera zo.

Omwami waffe yahhambye nti walwanira ku mulimu si mulundi gumu si ebiri naye kumpi buli luvannyuma lwa myezi esatu. Ekirala ovuma abakyala aboogera ne balo era oluusi ne weewera okubakuba.

Mwana wange okimanyi bulungi nti omwami waffe akoze nnyo okutuusa saluuni ye ku mutindo ogwo. Buli mukyala ayagala bamukolere mu saluuni ye olw’obukugu bw’alina era n’embeera gy’ayisaamu bakasitoma.

Naye kati bakasitoma bwe banadduka tugenda kulya wa? Sigaanyi omwami waffe alabika bulungi era nsuubira nti buli mukyala amwegomba, naye tekitegeeza nti abaagala. Ate alina okwogera nabo bulungi era n’okubasikiriza okukozesa saluuni ye kubanga saluuni nnyingi ze basobola okugendamu ne bafuna kye baagala.

Naye bwe basalawo okugenda mu saluuni ye, kitegeeza abayisa bulungi. Weesiimye otuula waka n’olinda ssente naye abakola ssente bazikolera mu bugubi.

Okuvuganya kungi era buli omu alina okukola okulaba nga kasitoma takyusa n’agenda awalala kubanga bw’agenda tasobola kudda.
Kati mwana wange oba tomanyi obuggya obungi bwonoona amaka, kubanga munno

Bw’atandika okulowooza nti tomwesiga asobola n’okutandika okukola ekyo ky’omusuubiriza.

N’ekirala oba weetaaga obuyambi ku nsonga eno tubuulire. Abakyala oba abasajja ababeera n’ebbuba eringi ebiseera ebisinga basobola n’okukola obulabe ku bantu be baagala, ng’okubaloga, okubatta, okubavuma n’ebirala. Njagala twogere ku nsonga eno. Kubanga w'otuuse olabika toli wekka, olina ekikutawaanya ku bwongo. Nkubiraako twogere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’