TOP

Omusajja ansuddewo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

Omwami wange yampasa nnina emyaka 19, ne tukola okutuusa lwe twagula ekibanja ne poloti ku kibuga. Ku kibuga twazimba ennyumba kubanga abaana basoma nga tulina kubeera mu kibuga.

Omwami wange yampasa nnina emyaka 19, ne tukola okutuusa lwe twagula ekibanja ne poloti ku kibuga. Ku kibuga twazimba ennyumba kubanga abaana basoma nga tulina kubeera mu kibuga.

Ate ekibanja twateekako emmwaanyi era zibadde ziyamba mu kusomesa abaana. Omwaka guno omwami wange yahhamba nti tagenda kubeera nange, afunye omukyala omulala.

Naye  poloti mu kibuga n’ekibanja bya baana baffe abataano. Okuhhamba bino yaleeta mugandawe ne ssenga wange awaka. Omwami wange mwagala naye simanyi kyamutuukako. Sigaanyi yankwatira mu bwenzi naye teyandituuse awo. Nkole ntya okumuzza? Mpulira nti poloti yagikyusa n’agiteeka mu mannya gange n’abaana era n’ekibanja. Nkoze kyonna ekisoboka agaanyi, agamba nti tasobola kubeera na mukazi mwenzi.

Mwana wange olabye naye mu butuufu wasobya. Abasajja abamu basobola okugumiikiriza omukyala omwenzi naye abasinga tebakisobola. Kati obwenzi bwe wakola munno bwamutuusa wala n’asalawo okukuleka afune omukyala omulala. Omwami ono nze ndaba nga takukoze bubi. Poloti mu kibuga eri mu mannya go ate n’ekibanja. Akulekedde obugagga bwe mwakola mwembi osobole okukuza abaana nga tebali mu muzigo ate oggyemu ssente okubalabirira. Abasajja abamu bw’ayawukana n’omukyala asobola okumugoba mu bintu byonna ate nga baabikola bonna n’ateekamu omukyala omulala gwe n’akuleka ng’oli awo tolina w’otandikira. Ekirala akussizzaamu ekitiibwa ne mwawukana ng’abantu bo weebali era n’abantu be nga tayagala weekwase nsonga yonna. Omusajja ono mu butuufu muzira era tayagala baana be kubonaabona. Baana bange bulijjo mbagamba nti okwenda kubi mu bufumbo. Abasajja okwenda kwabwe kirabika kwamanyiirwa, naye abasajja abasinga tebasobola kugumiikiriza mukyala mwenzi. Bw'oba oyagala okukuuma obufumbo olina okwewala okwenda kubanga gwe gumu ku mize egitagumiikirizika basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...