TOP

Omukazi yannema lwa kweraguza

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2019

OBUFUMBO bunyuma nnyo nga muwuliziganya. Nze Yunusu Mubiru 43, mbeera Zzana - Bunnamwaya.

Big 703x422

Nze ensonga z'omukwano mu kusooka zaali za nkalu olw'embeera ze nnasanga mu mukyala wange gwe nnasooka okuwasa.

Ng’omusajja yenna, nange bwe nnasajjakula ne ndaba nga nsaanye okufunayo mwana munnange gwe nsobola okubeera naye era n'enfuna omukazi ne tusiimagana.

Nnamusaba nga bwe nnali njagala omuwasa naye ky'atagaana kye yava ansaba asooke antwale ewa mmwannyina andabe bw'anzikiriza mmuwase.

Mukoddomi wange nnagenda ne mmulaba era n'akkiriza okumpa mwannyina okumuwasa mu bakadde tuligenda nga twetereezezza. Wano essanyu lyaffe ery'omukwano we lyatandikira ne munnange ono era nga mwagala naye ng’anjagala era nga tukuumagana ng’abafumbo.

Tuba tumaze omwaka gumu n'ekitundu mu bufumbo bwaffe nga mmaze n'okumuzaalamu omwana, hhenda okulaba ng’atandise emize gye saasooka kufaako nga ndowooza anaakyusa.

Omuze mukazi wange oyo gwe yalina gwali gwa kweraguza era nga guno gwanteeka nnyo ku bunkenke olw'ensonga nti nze muntu eyakula nga ssaagala bintu bino.

Nnamukwata enfunda nnyingi n'eddagala lye saamanyanga makulu gaalyo era ne ngezaako okumubuulirira naye n'alema.

Ekirala Mukyala wange yatandikanga buli kadde ne ntandikanga n’okutya okudda awaka ng’obudde bukyali olw’okutya omukazi okuntabukira.

Bwe nnalaba munnange agaanyi okukyusa mu mbeera ze ez'okuyomba n'okweraguza ne nsalawo mmwenenye o twawukane awatali kwetuusako buzibu.

Mu kiseera kino nnina omukyala omulala gwe nnawasa ampadde essanyu kubanga tukkaanya mu buli nsonga ampabula ne mmuwabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...