TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yalemwa okuntuusa ku ntikko n'akaaba

Yalemwa okuntuusa ku ntikko n'akaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Omusajja yalemwa okuntuusa ku ntikko n'akaaba naye ne ngezaako okumugumya.

Ssenga1 703x422

Yalemwa okuntuusa ku ntikko n'akaaba
 
Nnina ekizibu ekyokuba nti ndwawo okutuuka ku ntikko. Naye omusajja wange gwe nnina ennaku zino namufuna nga naye yeewaga. Era ne twekkata obuliri ne lutandika okukoya. 
 
Yagenda okulaba ng’amalamu akagoba kyokka nga nze nninga atandika obutandisi, musajja wattu ne yeekakaba n’ayungira munda luutu eyookubiri. 
 
Kyokka nga mulaba nti yali asonze n'ago mu buto. Era nagenda okulaba ng’apowa nga nze sinnaba na kuba nga ku kalebwerebwe k'okutuuka ku ntikko. Bambi nagenda okulaba ng’atulika akaaba!  
 
Ate ne ntandika kumusirisa kyokka nga mwongera bwongezi. Ekimukaabya kwali kulaba ng’ alemeddwa okuntuusa ku ntikko. Era yahhamba nti ye akitwala nti simwagala, kubanga omuntu gw'oyagala yandibadde atuuka ku ntikko.
 
Naye okulaba nga ye yafunvubira naggyayo n'ago mu buto n’alemwa okuntuusa mu bire, kiraga nti mu mmeeme yange yali taliimu. Nakanda kumunnyonnyola nti nze nnina ekizibu ky'obutamalamu kagoba nga buteerere. 
 
Okuva olwo omukwano gwaffe gwatandika okukendeera kubanga yatandika okwebwalabwala mu maaso gange mbu kuba yali alowooza nti simubalamu kuba musajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Hit2 220x290

Maama tonzita ebbinika nagiryamu...

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Enseenene: Omugano gwa November...

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda...

Mbarakuzi 220x290

'Abeenyigira mu ttemu mwekube mu...

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta...

Nana 220x290

Xhaka yeenyiyiddwa Arsenal: Agenda...

GRANIT Xhaka, eyaggyiddwaako obwakapiteeni bwa Arsenal olw’okuwemula abawagizi ayolekedde AC Milan eya Yitale....