TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bba wa mulamu wange anneesibyeko , nkole ntya !

Bba wa mulamu wange anneesibyeko , nkole ntya !

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Omwami wange yagenda kusoma naye omwami wa mulamu wange ankwana. Nnina ennugu ku mulamu wange ono kubanga yakwaniranga omwami wange abawala. Ssenga mukkirize kubanga nange mpulira njagala okubeerako n’omusajja. Omwami ono ankwanidde ebbanga nga n’omwami wange akyaliwo.

Ssenga1 703x422

Ssenga nsobedwa. Abantu bangi baleetawo embeera eno naye nga mu butuufu si kirungi. Omuntu yenna bw’akukola obubi olina okugezaako obutamukola bubi, kubanga kino bw’okikola naawe ofaanana ga ye.

Kati mwana wange ekirala oli mukyala mufumbo era omwami wo gw’olina okwagala yekka kati okwagala omusajja omulala olaba nga kireeta obuzibu mu maka?

Ekya mulamu wo okukwanira omwami wo abakyala ekyo kimanyidwa era balamu bakikola nnyo.

Naye tolina kwonoona bufumbo bwo kubanga omwami wa mulamu wo tasobola kukufuula mukyala era nsuubira nti naye ayagala kukwagalako bwagazi. Naye mwewuunya okukwana mukyala wa mukoddomi we.

Nze ndaba nga kisobola okuleeta obuzibu mu ffmire Kale mwana wange oba akukwana akukwane naye tomuwa ssuubi nti osobola okumwagala era nsuubira okulemerako amanyi nti naawe oli munafu mu mbeera gy’omulaga ng’asobola okukuwangula. Ate omusajja okukwana tekitegeeza nti aba akwagala.

Abasajja bangi bakwana naye abalina omukwano batono ddala. Era ennaku zino bangi bakwana naye nga bwagazi bwe bubatawaanya era bw’amala okwegatta naawe takuddira.

Abawala bangi ennaku zino bagamba nti bangi babakwana naye obufumbo bwagaana.

Kati omusajja bw’amanya nti oli mwangu era amanya nti ne ku basajja abalala bw’ogenda okubeera, kati olina okukyewala. Noolwekyo mwana wange toleeta buzibu mu famire ate sigala ng’oli mukyala mufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...