TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri ennyambala y'abakazi gy’ereka mu bizibu n'ebikemo

Engeri ennyambala y'abakazi gy’ereka mu bizibu n'ebikemo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

OMUKAZI bwe yeesala mmini, okuta ekifuba oba okwambala akagoye akamutippye n’atambula ng’anyeenya ekikolo n’okulaga ffi ga, aleetera abasajja bangi okukyusa ensingo oba okuzinuula beetegereze ebyengera bya Allah.

Place 703x422

Abalala bacankalana obwongo nga tebabaggyaako liiso olwo emirimu ne gyekulula so nga mulimu abafuniramu ebikemo.

Ennyambala enuula abasajja ensingo etera kweyorekera ku wiikendi nga teyawula bakazi bali ku mirimu, abali ku byabwe nga batambudde butambuzi oba abatambudde nga baliko bye baagala okugula naddala mu kibuga gye batatera kukwatibwa nsonyi n’obutabaako abakuba ku mukono.

Mu ofiisi, mu maduuka, obutale n’ebifo ebirala abantu gye bakolera, Olwokutaano bwe luyingirawo, abakazi babeera nga be basumuludde okuva ku nnyambala etera okugobererwa mu bifo gye bakolera.

Batandika okwambala engoye ezikunukkidde oba ziyite mmini, sikaati oba ebiteeteeyi okuli siriiti empanvu, mulimu abambala ezita ebifuba olwo amabeere kyenkana ne gayita ebweru.

Ababeera n’ebbeere erikyesimbye obulungi ku kifuba wano we beegiriisiza ng’ekigotta entula anti oluusi tobanyumiza bya kaleega olwo ebbeere ne balireka okuligitira mu bbulawuzi.

Bano bamanyi n’okussaamu ennyongeza ne bambala bbulawuzi oba ebiteeteeyi ebya musalankwawa abasajja ne babaleka ku kibonerezo kyennyini eky’okunuuka ensingo!

Bw’oba okyali ku abo ate ne zireeta abeesala obugoye obubatippa abamu ze bayita ffi itingi eziraga engeri gye baakula era nga mulimu n’abambala eziringa obutimba nga ziraga omubiri.

Ennyambala eno y’ecankalanya obwongo bw’abasajja emirimu gye baliko ne gisikattira anti babeera mu kulookalooka nga baagala okubalingiza era abamu bakiyita kuwa maaso ssanyu oba okubakolera olunaku.

Abalala ebateeka mu mbeera ya kukemebwa era abateekwata musoobooza wano we balumbira okubatokota.

Godfrey Lutwama atunda amasimu ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero mu Kampala agamba nti bw’otabeera na mutima mugumu nnyo buli wiiki oyinza okwesanga nga kasitoma eyazze okugula essimu ate ng’omuwadde ya bwereere oba ng’ogimuguzizza layisi nnyo ; okugeza eya 400,000/- oyinza okugitundira ku 200,000/-.

Agamba nti waliwo bakasitoma abawala abajja nga balinga bikemo byennyini! “ Nzijukira waliwo omuwala eyali azze okugula essimu ng’awerekeddwaako munne. Yali mu kateeteeyi nga kyenkana ekifuba kyonna kiri bweru.

Nasooka kubannyonnyola ebikwata ku ssimu ne balabika nga bamatidde. Akalippo ke baasooka okuntega ka muwala eyali ayagala essimu okukutama ku kawunta olwo ne nnengera buli ekiri mu kifuba kuba ebbeere teryali mu kaleega; lyali lyesimbye bulungi ku kifuba era amaaso gaasibira mu kitundu amagulu we geegattira ku kiwato.

Bannange teebereza! Olwo emmere y’amaaso yali erabise era obwongo bwatandikirawo ‘okutalagga’.

Baanabawala baalinga abeekobaanye kuba munne gwe yali naye yatandika okunneegayirira okwongera okubasalira ku bbeeyi mu ddoboozi eritengula omutima’.

Wakati mu kunyumirwa n’ebikemo bye nnalimu nakomekkereza essimu ngisaze 150,000/- miramba kyokka ng’ekinene nandibadde nsalako 50,000/- zokka.’’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye