TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensundo zimmazeeko emirembe, nkoze ntya?

Ensundo zimmazeeko emirembe, nkoze ntya?

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Nnina ensundo mu bukyala naye zinnemeddeko. Mbadde nkozesa eddagala erya buli kika naye zigaanye. Bagamba nti muggya wange yandoga naye ate yafa dda. Kati andonga ali mu ntaana oba yandoga dda? Naye yagenda okufa nga sirina nsundo zino.

Ssenga1 703x422

Mwana wange okusookera ddala olina obulwadde bw’ekikaba era wabufuna mu kwegatta. Ebyo bye bakugamba nti bakuloga mwana wange si bituufu.

N’ekirala toddamu okugenda nga weeraguza ku nsonga eno. Olina kugenda mu ddwaaliro n’olaba omusawo omukugu akuyambe ku nsonga eyo.

Abantu abalina ekizibu kye kimu nabo balowooza nti baabaloga. Osobola okusiiga n’abo be weegatta nabo era balina okufuna obujjanjabi.

Ensundo zitandika mpola kyokka teziruma naye bwe zirwawo zikula era ne zitandika n’okuwunya.

Ng’obulwadde obulala obw’ekikaba, nazo zisobola okuleeta siriimu ssinga weegatta n’omuntu amulina. Weeyune mangu eddwaaliro eddene ofune obujjanjabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabiriziwemukonojameswilliamssebaggalanabamukubasumbanabaweerezangabatuukakukkanisawebuse 220x290

Abakkiriza b’ekkanisa ya Uganda...

Abakristaayo mukulembeze okuteekateeka okukuza abaana kubanga y'ekkanisa ey'enkya basobole okutambuza obusumba...

Banyiivu2 220x290

Aba NRM beekandazze mu lukiiko...

Bano beebunguludde omu ku omu okukkakkana ng’ekizimbe kigenda kikala kyokka waliwo abaasazeewo okulinnya akatuuti...

Mugabikupoliisiekawempeweyagiddwaokutwalibwamukkooti3 220x290

Ssente z'ekibiina zimutwazizza...

Yagambye nti November 4 omwezi guno Mugabi ne banne baagenda mu bbanka ya Finance Trust ku Kaleerwe ne baggyayo...

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Basket 220x290

UCU Canons yeesunga kutwala kikopo...

UCU emaze emyaka 5 nga fayinolo ya basketball egiwulira mu bigambo. Ku luno ewera kugiwangula.