TOP

Omukazi yadduka n’olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

NZE Siraje Isabirye, mbeera Bweyogerere Kakajjo era ndi musuubuzi wa birime mu katale e Nakawa.

Soma 703x422

Nafuna omukyala omusawo okuva e Busia ne mmuwasa era ne twesuubiza okwekulaakulanya n’okubeera ffembi ebbanga lyonna wadde nga twali tetukoze mikolo mitongole gyonna.

Omukyala nnamala naye omwaka gumu n’afuna olubuto era lwali lwakaweza emyezi musanvu n’atabuka n’atandika okunnyombesanga buli bwe naddanga awaka.

Lumu nagenda mu katale okukola kyokka kyambuukako bwe naddayo olweggulo ng’ennyumba yonna nkalu.

Baliraanwa ne bahhamba nti yaleeta emmotoka n’asiba ebintu. Okuva olwo siddangamu kumulabako kuba simanyi gye yaddukira.

Yankubirako omulundi gumu ng’asaba obuyambi era n’antegeeza nti yazaala mwana  mulenzi.

Nnamuweereza emitwalo etaano ku ssimu gye yankubirako kyokka bwe nnaddamu okugikubako nga teriiko n’okutuusa kati.

Ekisinga okunnuma nti tewaaliwo nsonga ya maanyi wabula yatabuka lumu n’atandika okugamba nti simwagala kyokka nga buli kimu kyali kitambula bulungi.

Nasooka ne ndowooza nti lubuto lwe lumutawaanya era nga mmanyi nti anaatereera ng’amaze okuzaala.

Ekisinga okunnuma kwe kuba nti omwana wange simulabangako kyokka omutima gunnuma.

Waliwo oluusi lwe ndowooza okufuna omukazi omulala kyokka olulala ne hhamba oba nnindeko nga nsuubira nti anaakomawo.

Kye ntya kwe kufuna omukazi omulala ate oli n’akomawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte