TOP

Omwana si wa baze!

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

omwami n’abaana basatu. Omwana owookusatu si wa mwami naye kirabika atandise okuwulira olugambo. Jjuuzi yang'amba nti ayagala abaana bonna kubatwala mu musaayi. Kyampisa bubi nnyo era mmaze ennaku ttaano nga sseebaka. Omwami wange alina ebigambo bitono naye alina obusungu bungi. Kati ntya kubanga nsobola okufiirwa obufumbo. Nkole ntya?

NNINA omwami n’abaana basatu. Omwana owookusatu si wa mwami naye kirabika atandise okuwulira olugambo. Jjuuzi yang'amba nti ayagala abaana bonna kubatwala mu musaayi. Kyampisa bubi nnyo era mmaze ennaku ttaano nga sseebaka. Omwami wange alina ebigambo bitono naye alina obusungu bungi. Kati ntya kubanga nsobola okufiirwa obufumbo. Nkole ntya?

Embeera eno abakazi bangi tebagirowoozaako. Naye kyewuunyisa ebintu ebibi era ebiswaza ebisinga birina okumanyika ne bw’okola otya. Ekirungi ensobi ogimanyi bulungi, olina kusirika olinde ekiddako. Kubanga tolina ky’otaasa. Tosobola kugaana mwami wo kutwala baana ku musaayi. Ate era tosobola kumugaana kukola ky’ayagala nga okukukyawa oba okukugoba mu makaage. Ayinza n’okugaana okulabirira omwana. Kati olina kulinda kinaddako. Abantu abasirise bazibu nnyo okumanya kye baliko ofunda n’alina ebigambo kubanga abifulumya n’omanya ekiddako. Ebiseera ebisinga ng’oli mu nsobi ng’eno olina kusirika toyogera bingi okuggyako nga weetonda. Abasajja abamu okukuuma ekitiibwa ky’amaka ayinza okukkiriza ensonga eno n’esigala nga kyama gye muli era ne muteesa mwembi ku nsonga y’omwana oyo.
Naye mu mbeera eno okukendeeza ku situleesi olina okwogera n’omuntu asobola okukubudaabudda. Guma obeerayo naye ensobi weeri. Bawala bange mukomye obwenzi.
Bawala bange abendera mu maka muamnye nti kya kivve. Kyangu okufiirwa amaka mu mbeera eno. Nga tonneenyigira mu bwenzi, sooka olowooze ku biyinza okuvaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...