TOP

Omuwala anjagala?

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Nafuna omuwala naye n’andekawo n’agenda ewaabwe. Teyahhamba nti ankyaye naye nsuubira okugenda ewaabwe okumukima kubanga nnali mmwagala nnyo. Namukubiranga essimu nga takwata era kati teriiko. Lumu yakwata nahhamba nti mmwesonyiwe. Ssenga ddala omuwaala ono ali ku ki?

Nafuna omuwala naye n’andekawo n’agenda ewaabwe. Teyang'amba nti ankyaye naye nsuubira okugenda ewaabwe okumukima kubanga nnali mmwagala nnyo. Namukubiranga essimu nga takwata era kati teriiko. Lumu yakwata nahhamba nti mmwesonyiwe. Ssenga ddala omuwala ono ali ku ki?

Okusookera ddala omuntu yenna ng’akwagala aba ayagala okukuwuliza buli kiseera. Naye omuntu ssinga omukubira n’ataddamu oba n’akola ebikolwa ebiraga nti takuliiko oba olina kumwesonyiwa. Sigaanyi abantu bangi balemerako olw’omukwano naye ng’omuntu asazeewo okumwesonyiwa asinga.

Oluusi kizibu okwesonyiwa omuntu ng’omwagala naye ate bw’omala obudde ku songa ng’eyo ggwe olumwa.  Kale mu bulumi obungi olina kumwesonyiwa n’omuggya mu birowoozo.

Era ogenda okulaba ng’omutadde. Omuwala ono lwe yagenda ewaabwe alabika  yali akukyaye oba si kyekyo yagenda omutima gy’oli ne gufa  n’asalawo obutakwata ssimu z’omukubira. Bwe yakwata essimu n’akugamba omwesonyiwe kitegeeza yali akubuulira ekituufu kubanga gw’oyagala oba oyagala okumuwuliza. Sikugaana kugenda kukima muwala ono naye alabika yakukyawa.

Omuntu okukukyawa nga ggwe omwagala kyabulijjo naye gwe alina omukwano olina kumwesonyiwa. Ssinga omwesonyiwa weeyamba mu birowoozo okusinga okumwesibako. Kizibu naye kisoboka.  Kati okugenda okulaba omuwala oyo kiri gy’oli naye nze ndaba omala budde. Omuntu ayinza okukukyawa olw’empisa zo ate oluusi ayinza okukukyawa nga tolina ky’omukoze naye ng’omutima teguliiyo gy’oli. Ennaku zino abantu bangi omukwano tegubeerayo, olina okwekkaanya.

Bw'aba alina ky'akwagalako abeera naawe era bw'alaba ng'akifunye ng'akuviira. Kale mwana wange ono mwesonyiwe takuliko ate yakugamba ayinza okuba ng'aina w'afumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.

Buku1 220x290

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa...

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde...

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...