TOP

Okukuba abakazi kwadiba

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Omusajja okukuba mukaziwe kya bukopi era teri musajja ategeera akikola. Ate okumukuba olw'okugaana okwegatta naawe, kyokka ng'okimanyi nti akyali nnakawere kyongera okulaga bw'olina effugabbi!

Muwala waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga yakugamba naye tewategeera. Muwala waffe wamanya nti teyazaala bulungi era baamugamba nti alina okumala akaseera nga teyeegatta.
Alina okuddayo mu ddwaaliro ne bamukebera ne balaba oba ali bulungi asobole okuddamu okwegatta. Ensonga eyo yagikugamba ng’avudde mu ddwaaliro naye ndowooza wali omanyi nti alimba.

Mu busungu obungi muwala waffe obadde omukuba ng’ensonga ya kukumma kaboozi. Mwana wange ggwe tolaba ng’ekyo kiswaza nnyo. Gwe tosobola kugendera ku mateeka g’abasawo oba omwagala ng’afudde.
Ekirala oba wasobola okubeerawo omwaka mulamba ng’agenze okusoma lwaki kino tokigumiikiriza?
Abakyala nga bamaze okuzaala alina okuddayo okulaba omusawo oluvannyuma lwa wiiki nga ssatu. Olwo omukyala yenna asobola okuddamu okwegatta naddala ng’azadde bulungi.
Gwe kubanga toli mukyala, tomanyi buzibu bwe bafuna nga bazaala. Okuzaala obeera wakati mu kufa, naye munno bw’azaala ne bamugamba alindeko okwegatta kitegeeza abasawo bakiraba nga kyetaagisa okulindako.Ate bw’okuba nakawere mwana wange sikutegeera.
Okukuba abakyala nga kwadiba dda! Omusajja akuba amukazi ennaku zino abeera akoze kivve.
Kaakati ssinga obadde ggwe owulira otya nga bakukubye kyokka nga bakukubidde nsonga ya kwegatta gye baakugaana?
Embeera ey’effugabbi y’enobya abakyala ennaku zino. Omukyala naye muntu nga ggwe. Laba kale bw’otuswaza! Nakawere naye bamukuba? Olina okusaba ekisonyiwo. Tugenda ffenna ku Ssande twogere ne bakulu bannaffe ku nsonga eno. Naye bo bagamba bw’oba ojja kukuba omwana waabwe, waakiri ajja kusigala ewaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.