TOP

Omwana omu si wa mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Omwana owookusatu si wa mwami naye kirabika atandise okuwulira olugambo.

Ssengalogo 703x422

NNINA omwami n’abaana basatu. Omwana owookusatu si wa mwami naye kirabika atandise okuwulira olugambo. Jjuuzi yaηηamba nti ayagala abaana bonna kubatwala mu musaayi. Kyampisa bubi nnyo era mmaze ennaku ttaano nga sseebaka.  Omwami wange alina ebigambo bitono naye alina obusungu bungi. Kati ntya kubanga nsobola okufiirwa obufumbo. Nkole ntya?
 
Embeera eno abakazi bangi tebagirowoozaako. Naye kyewuunyisa ebintu ebibi era ebiswaza ebisinga birina okumanyika ne bw’okola otya.
 
Ekirungi ensobi ogimanyi bulungi, olina kusirika olinde ekiddako. Kubanga tolina ky’otaasa. Tosobola kugaana mwami wo kutwala baana ku musaayi.
 
Ate era tosobola kumugaana kukola ky’ayagala nga okukukyawa oba okukugoba mu makaage. Ayinza n’okugaana okulabirira omwana.
 
Kati olina kulinda kinaddako. Abantu abasirise bazibu nnyo okumanya kye baliko ofunda n’alina ebigambo kubanga abifulumya n’omanya mangu ekiddako.
 
Ebiseera ebisinga ng’oli mu nsobi ng’eno olina kusirika toyogera bingi okuggyako nga weetonda. Abasajja abamu okukuuma ekitiibwa ky’amaka ayinza okukkiriza ensonga
eno n’esigala nga kyama gye muli era ne muteesa mwembi ku nsonga y’omwana oyo.
 
Naye mu mbeera eno okukendeeza ku situleesi olina okwogera n’omuntu asobola okukubudaabudda. Guma obeerayo naye ensobi weeri. Bawala bange mukomye obwenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.