TOP

Omuwala anjagala?

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Namukubiranga essimu nga takwata era kati teriiko. Lumu yakwata naηηamba nti mmwesonyiwe. Ssenga ddala omuwaala ono ali ku ki?

Ssengalogo 703x422

NAFUNA omuwala naye n’andekawo n’agenda ewaabwe. Teyaηηamba nti ankyaye naye nsuubira okugenda ewaabwe okumukima kubanga nnali
mmwagala nnyo. Namukubiranga essimu nga takwata era kati teriiko.
Lumu yakwata naηηamba nti mmwesonyiwe. Ssenga ddala omuwaala ono ali
ku ki?
 
Okusookera ddala omuntu yenna ng’akwagala aba ayagala okukuwuliza buli
kiseera. Naye omuntu ssinga omukubira n’ataddamu oba n’akola ebikolwa ebiraga nti
takuliiko oba olina kumwesonyiwa.
 
Sigaanyi abantu bangi balemerako olw’omukwano naye ng’omuntu asazeewo okumwesonyiwa asinga.
 
Oluusi kizibu okwesonyiwa omuntu ng’omwagala naye ate bw’omala obudde ku songa ng’eyo ggwe olumwa.
 
Kale mu bulumi obungi olina kumwesonyiwa n’omuggya mu birowoozo. Era ogenda okulaba ng’omutadde. Omuwala ono lwe yagenda ewaabwe alabika yali
akukyaye oba si kyekyo yagenda omutima gy’oli ne gufa n’asalawo obutakwata
ssimu z’omukubira.
 
Bwe yakwata essimu n’akugamba omwesonyiwe kitegeeza yali akubuulira ekituufu kubanga gw’oyagala oba oyagala okumuwuliza.
 
Sikugaana kugenda kukima muwala ono naye alabika yakukyawa. Omuntu okukukyawa nga ggwe omwagala kyabulijjo naye gwe alina omukwano olina kumwesonyiwa.
 
Ssinga omwesonyiwa weeyamba mu birowoozo okusinga okumwesibako. Kizibu naye
kisoboka. Kati okugenda okulaba omuwala oyo kiri gy’oli naye nze ndaba omala
budde.
 
Omuntu ayinza okukukyawa olw’empisa zo ate oluusi ayinza okukukyawa
nga tolina ky’omukoze naye ng’omutima teguliiyo gy’oli. Ennaku zino abantu bangi
omukwano tegubeerayo, olina okwekkaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...