TOP

Okukuba abakazi kwadiba dda

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

MUWALA waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga yakugamba naye tewategeera.

Vio 703x422

MUWALA waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga
yakugamba naye tewategeera.
 
Muwala waffe wamanya nti teyazaala bulungi era baamugamba nti alina okumala akaseera nga teyeegatta.
 
Alina okuddayo mu ddwaaliro ne bamukebera ne balaba oba ali bulungi asobole okuddamu okwegatta. Ensonga eyo yagikugamba ng’avudde mu ddwaaliro naye ndowooza wali omanyi nti alimba.
 
Mu busungu obungi muwala waffe obadde omukuba ng’ensonga ya kukumma kaboozi. Mwana wange ggwe tolaba ng’ekyo kiswaza nnyo.
 
Gwe tosobola kugendera ku mateeka g’abasawo oba omwagala ng’afudde.
 
Ekirala oba wasobola okubeerawo omwaka mulamba ng’agenze okusoma lwaki kino  okigumiikiriza? Abakyala nga bamaze okuzaala alina okuddayo okulaba omusawo oluvannyuma lwa wiiki nga ssatu.
 
Olwo omukyala yenna asobola okuddamu okwegatta naddala ng’azadde bulungi. 
Gwe kubanga toli mukyala, tomanyi buzibu bwe bafuna nga bazaala.
 
Okuzaala obeera wakati mu kufa, naye munno bw’azaala ne bamugamba alindeko okwegatta kitegeeza abasawo bakiraba nga kyetaagisa okulindako.
 
Ate bw’okuba nakawere mwana wange sikutegeera.
 
Okukuba abakyala nga kwadiba dda! Omusajja akuba amukazi ennaku zino
abeera akoze kivve.
 
Kaakati ssinga obadde ggwe owulira otya nga bakukubye kyokka nga bakukubidde nsonga ya kwegatta gye baakugaana? Embeera ey’effugabbi y’enobya abakyala ennaku zino.
 
Omukyala naye muntu nga ggwe. Laba kale bw’otuswaza! Nakawere
naye bamukuba? Olina okusaba ekisonyiwo.
 
Tugenda ffenna ku Ssande twogere ne bakulu bannaffe ku nsonga eno. Naye bo bagamba bw’oba ojja kukuba omwana waabwe, waakiri ajja kusigala ewaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...