TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki weesiba ku kwongera okuzaala abaana abalala?

Lwaki weesiba ku kwongera okuzaala abaana abalala?

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

Omukyala yenna naddala ennaku zino azaala ng’atunuulira muggya we aba talowoozezza.

Ssengalogo 703x422

OMWAMI waffe yaηηambye nti akooye okuzaala naye gwe okyayagala.
Mulina abaana musanvu kyokka abaana basatu obazaalidde ku kiso. Ggwe ogamba nti ssinga okoma okuzaala, muggya wo agenda kwongera okuzaala akusinge.
 
Mwana wange okusookera ddala ebubba toliteeka ku bulamu bwo. Abaana b’olina bamala. N’ekirala oba obadde tokimayi kirungi omukyala n’akoma ku baana nga
bataano. Buli lw’ozaala ennyo, nnabaana atandika okukoowa ate naawe ng’omukyala okaddiwa.
 
Edda bannyaffe baazaalanga abaana bangi kubanga baali bakyala abalamu obulungi nga balya bulungi ate nga bakozi ekitaliwo ennaku zino.
 
Ekirala okuzaalira ku kiso olina kukoma ku baana bana, ate n’ekirala mwana wange owezezza emyaka 36 kitegeeza nti emikisa gy’okufuna ebizibu ng’ozaala mingi ddala. Kaati simanyi oba oyagala kufa ng’ozaala.
 
N’ekirala muggyawo muleke oba azaala bangi ebyo bibye. Kubanga oli wakati mu kufa.
 
Omukyala yenna naddala ennaku zino azaala ng’atunuulira muggya we aba talowoozezza. Ennaku zino abasajja abamu obuvunaanyizibwa butono, abalala ayagala okubeera
n’obuvunaanyizibwa n’alabirira abaana be bulungi naye obusobozi ne bugaana.
 
Bw’ozaala abangi weesanga nti ggwe ng’omukyala weeteekako omugugu omunene ogw’abaana abo. Kkiriza omwami waffe ky’agamba kuba tetwagala kukufi irwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...