TOP

Buli ansuubiza okumpasa andekawo

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2019

BANNANGE nze ensonga z’omukwano zantabukako. Abasajja bammenye nnyo omutima, buli gwe nfuna andekawo awatali nsonga era obuzibu bwe nnina sibumanyi.

Wasa 703x422

Nze Irene Ayaado 35, mbeera Makerere Kavule mu muluka gw’e Kawempe.

Twasisinkana ne baze eyasooka mu 2008 nga tutambuza bulungi omukwano gwaffe nga tutegeka na kukyala mu bazadde.

Tuba tukyali mu nteekateeka omusajja n’akwatamu ebintu bye n’andeka mu nnyumba nga tetuyombye.

N’okutuusa kati siddangamu kumulaba era n’ensonga eyamutwala saagimanya.

Nga wayise ebbanga, nafuna omusajja omulala gwe nali nsuubira nti anannaazaako ennaku eyasooka gye yampisaamu n’okunzigyako ekisiraani kuba abantu bahhamba nti omusajja bw’akulekawo nga mubadde mutegeka kugenda mu bazadde kiba kisiraani. Twasisinkana mu 2015 nga ntunda ngoye.

Yali omu ku bakasitoma bange era buli lunaku yakakasanga nti ajjako we natundiranga engoye ne bwe yabanga si waakugula waakiri ng’alamuza.

Nga wayise ebbanga, yanjogereza ne mmukkirizza era ne tutandika omukwano gwaffe mu maanyi nga n’abatulaba batwegomba.

Ekiseera kyatuuka baze n’ansaba ntandike okubeera naye era olw’omukwano gwe nalina nakkiriza. Nga wayise ekiseera, nafuna olubuto era n’alukkiriza.

Yandabirira okutuusa lwe nazaala era n’ansaba mutwale mu bakadde mmwanjule. Saalwa nga nkola kye yali ansabye era enteekateeka ne zikolebwa, n’olunaku ne lukkaanyizibwako.

Nga wabula ennaku ntono okutuuka ku lunaku mulindwa, ono naye yakwatamu ebintu bye nagenda ng’eyasooka bwe yakola.

Namubuuza obuzibu kwe buvudde neetonde naye nga mukambwe ebitagambika bw’atyo n’andeka mu nnyumba n’omwana.

Landiroodi yatugoba mu nnyumba kuba nali sikyasobola kugisasulira ate nga n’ekyokulya sikirina.

Embeera eno teyayawukana na yasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...