TOP

Gwe napakukira okuwasa yakimmalako

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

NZE Patiriisi Kyewalabye 30, mbeera Mukono. Kiba kyabuvunaanyizibwa okusooka okutwala obudde okwetegereza omuntu nga tonnasalawo kumuwasa oba okumufumbirwa okwewala okwejjusa obulamu bwo bwonna.

Mwa 703x422

Kyewalabye

Mu 2011, naganza omuwala eyali alabika obulungi. Olwokuba nali namwegomba okumala akabanga, saatwala bbanga ddene kumwetegereza era waayita mbale nga tutandise obufumbo.

Mikwano gyange gyandabula ku nsobi gye nali nguddemu wabula olw’omukwano omungi gwe nalina eri munnange, ssaabawuliriza okutuusa lwe nakyezuulira.

Omukyala yandagirawo emize gye nga tewannayita wadde omwezi.

Yali mulimba nnyo nga ne bw’oba omukwatidde mu nsobi takkiriza. Obuvunaanyizibwa bw’awaka bwo yali yabusuula era ng’ebiseera ebisinga nze neekolera emirimu.

Omulimu gwe omukulu gwali gwa kunsabanga ssente na kutambula mu banne mpozzi n’okubunyisa enjiri nga bwe yafumbirwa omusajja omugonvu.

Ebintu byonna bye yakolanga byannuma ne nejjusa ekyamumpasisa. Nagezangako okumubuulirira naye ne yeerema.

Mu bbanga lya myezi mukaaga, natuuka ekiseera ne mpulira nga mukooye wabula ne nsigala nga nkyagumye kubanga nali saagala kweswaza mu bazadde ne mikwano gyange abandabulanga.

Neenyiwa omulundi gumu ne mmulagira ave mu maka gange, kye yakkiriziganya nakyo nga takaayanye.

Omuwala oyo yandeetera okusooka okwenenya ebyomukwano okutuusa lwe nafuna omulala gwe nnina kati era tulina abaana babiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...