TOP

Omukyala kaalaala alumya omutima

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2019

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala ne mukyala wange saamulumyako lunaku lwonna. Nze Milton Wachidisa, 28, mbeera Kawempe -Kiganda.

Gnda 703x422

Ng’omuvubuka yenna omulala nange olwavumbavumbamu, nasalawo okufunayo munnange tutandike obulamu.

Nafuna omuwala eyali omulungi kaalaala era nga bw’omutunulako naawe okkiriza.

Twabeera ne nnalulungi wange ono okumala akaseera akawerako ng’omukwano gutusaza mu kabu era ng’amwagerako ekibi aba alina kyanjagaza.

Olw’omukwano omungi gwe twalimu ne mwana muwala, namusaba mutwalire ddala awaka afumbe naye kye yakkiriza olw’omukwano naye gwe yalina gyendi.

Bwe nnamala okumussa mu maka ne mmanya obuwanguzi mbutuuseeko era nfuuse musajja ajjudde.

Waayita akaseera katono ddala n’ampa ezzadde olwo n’omukwano gwaffe ne gweyongera okutinta.

Naye wakati mu ssanyu ate ne bannakigwanyizi we baayingirirawo ne bakyusa munnange ebirowoozo n’aba nga takyatuula waka anti nga bw’omuleka awaka ne weewungulako ogenda okudda nga talabikako.

Enfunda nnyingi naddanga awaka ng’omukyala taliiwo nga n’ekisinga okuluma kwe kunkonkonanga amatumbibudde ng’ava mu biduula ne be yayitanga mikwano gye egyamusigulanga.

Nagezaako nga bwe nsobola okwogera ne munnange okulaba ng’akyusa mu mpisa naye ng’emikwano gimuwaga era nga bwe bamubuuza nti akugaana atya?

Olwasembayo twakubagana bubi nnyo okukkakkana ng’amaka agasuddewo era kati abakyala ndaba balabe.

Nsaba yenna asoma emboozi yange ampe ku magezi ndabe bwe nnyinza okuyita mu kusoomoozebwa kwe ndimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...