TOP

Omukyala asusse okumpisiza omukka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2019

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola enju yonna ebeera ewunya. Mugambye ku mbeera eno enfunda eziwera naye takitegeera bulungi. Kati nkoze ntya ssenga omukyala ono okutegeera nti ky’akola si kirungi.

Manya 703x422

ABANTU bangi tebakimanyi nti okufulumya omukka omubi mu bantu kibi. Abantu bakola ebintu bingi naye nga si bya buntubulamu ng’okuwandula amalusu ng’abantu abalala balaba, okufulumya eminyira okuva mu nnyindo n’ebirala.

Kati munno ono okufulumya omukka bwegutyo kirabika alya nnyo emmere erimu ekyokulya ekizimba omubiri ng’ebijanjaalo, ennyama, amagi n’ebirala. Abantu abamu tebamanyi nti okuyisa omukka mu bantu kibi.

Kati omukyala ono alina okukimanya kubanga teri ayagala kuwunyiriza muka mubi. N’ekirala okufuyisa omukka guno ng’omuntu tamanyi katugambe nga yeebase, aba tasobola kukyebeera kuba aba tamanyi, naye akikola ng’amanyi aba akola kibi.

Emmere ezimba omubiri eyo ssinga erwa mu lubuto, etandika okuvunda era gwe mukka ogwo ogumuvaamu.

Newankubadde twagala nnyo ebintu ng’ennyama mu butonde, ennyama si kye kintu kye tulina okulya. Kale olubuto lulwawo nga lugoya ennyama eyo kale n’etandika okuvunda kubanga mu lubuto namwo mulimu obuwuka.

Era kwe kufulumya omukka oguwunya. Kati nga toyagala mukka guwunye nnyo, olina okunywa ennyo amazzi, okulya ebivavava n’ebibala olwo omukka guba teguwunya nnyo. Kale munno mugambe alye ebivaavava mpozzi n’ebibala.

Naye oluusi omuntu ayinza okuba ng’alina ekirwadde mu lubuto kale ayinza n’okugendako mu ddwaaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee