TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetedde abaagalana okutya okusiba empeta

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba empeta

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Easy 703x422

Abagole nga baakagattibwa.

Kino kitegeeza nti abantu bangi abali mu bufumbo bwa ‘kawundo kakubye eddirisa’ oba okuba nti kati abasajja bazaala mu bakazi abaana ne babaleka awo.

Ekimu ku bireese kino bye byenfuna abaagalana bye bataddemu okusindana nga beepimira ku mitindo gy’embaga za banaabwe.

Olw’okuba balaba nga tebannaba kuzituuka, bo ne bawoza “tugira tulindako” gye biggweera nga bakaddiye embaga zibalemye okukola. Bino bye biri mu kunoonyereza okwakoleddwa ekitongole kya BRIDEBOOK ekyafulumiziddwa mu Bungereza.

Ekitongole kino era kyazudde ng’emirundi mingi abawala be bakazaala bulwa. Kubanga beegwanyiza abasajja abafumbo kubanga baba balinawo ke balina ne baleka ab’emyaka gyabwe.

Kale ate ng’abasajja bano baba tebakyayinza kukuba mbaga mulundi gwakubiri. Okukkakkana nga bazaalidde mu mizigo kubanga abasajja bano baba tebalina we bayinza kubateeka.

Ate n’abazadde abamu ne balwenyigiramu. Bakuza abaana baabwe abawala nga babakomekkereza nga bwe bateetaaga kubaleetera bako baavu.

Kati mu kukandaalirira nga banoonya abasajja abalina lupiiya, ne beesanga nga bakaddiye nga tebafunye ali ku ddaala lya bugagga abazadde lye baagala.

So ng’omusajja omuto aba alina ebyo ebitono ggwe ate yandifunidde mu lubuto lwa maama we? Kyokka okunoonyereza kuno n’abasajja tekwabatalizza.

Bo okwagala okwetuluba we balina obuzibu. Bwe baba n’abaagalwa baabwe, boogerera mu bya bbeeyi, era ne balaga nti n’okwanjula bwe kuteekwa okuba. Kati buli lw’afuna ekirowoozo okutukuza obufumbo, ng’alaba nga byabaddenga ayogereramu eby’ebbeeyi tabirina, ng’akwongezaayo.

Abaanoonyereza era baakubidde nga bagamba nti akabaate akasinga kali ku mukazi okusooka n’azaala.

Kubanga atandika okwagala okuzzaako omwana we ng’awoza “akaana kange n’akazaala kokka...!” Kumbe akaddiwa.

Okunoonyereza era kwazudde ng’emigogo gy’abagole egigattibwa mu masinzizo gikendedde so ng’ate obungi bw’abantu bweyongera buli olukya.

Kyokka ng’ate nabo ababa bagattiddwa oba okuwoowebwa abaawukanye bonna bongera kugezza muwendo gwa ‘bakawundo kakubye eddirisa.’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...