TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebizibu ebibeera mu kutambuliza omukwano mu butaala

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza omukwano mu butaala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Research1 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano.

Abavubuka bangi bwe babaako omuwala gwe batokota mu mukwano batera okwewanika nga bwe bali aba kiraasi eyawaggulu nga bagenderera okutengula emitima gy’abawala be bakwana.

Bano batera okwewaana nga bwe balina emirimu oba bizinensi ezibasasula obulungi era mu kusooka, batera okukola ebintu ebiraga nti balina ssente.

Mulimu abalimba nga bwe baazimba edda amaka so nga bakitawe basuzibwa busuzibwa oba okupangisa.

Abalala beeteeka mu ssa ly’okubeera ba ‘my car’ ntegeeza okwevuga era bano bamanyi okufuna we beeyazika emmotoka okuliiramu obulamu n’abawala be baakafuna mu mukwano oba be bakyakwana.

Mulimu abeewaayiriza nga bwe bava mu famire engagga ng’ensonga za ssente tezibeekubya mpi.

Engeri gye babeera bakyakwana oba nga baakafuna omuwala, oluusi batuuka n’okwewola oba okubba okulaga nga bw’ali obulungi. Bano bayinza okukucakaza mu bifo eby’ebbeeyi muli omuwala n’atuuka n’okunyumizaako banne oba bazadde be nga bw’ateebye olulenzi.

N’abawala nabo bamanyi okweteeka mu butaala okulaga abalenzi nga bwe batali ba layisi! Bwe babeera banaasisinkana omulenzi, bafuba okwambala ebintu eby’ebbeeyi n’okukwata essimu egula obuwanana.

Wabula bw’obeetooloola ennyo weesanga ng’engoye n’engatto bye beesaze nga babyeyazise ku bannaabwe mu nkola abamu gye bayita ‘ okumuwa oba okumwazika ebinaakuba omulogo’.

Obuzibu bw’okutambuliza laavu mu butaala Buli gy’okoma okweteeka mu kiraasi eya waggulu etali yiyo oluusi ekiseera kituuka n’oyabika.

Abadde yeewaana okubeera ne ssente kyokka nga takola oba kale ng’akola naye ng’omusaala mutono, weesanga nga tokyasobola kutambulira mu kiraasi eya ‘high high’ gy’otandikiddemu.

Dan Ddamulira owa NANA Counseling Services ng’ono abudaabuda abaagalana n’abalina okusoomoozebwa mu mukwano agamba nti omukwano bw’ogutambuliza mu butaala oba kiraasi eya waggulu kyokka nga si kyoli ebiseera ebisinga weesanga ng’ofuuse mulimba.

Teebereza ng’olimbye omuwala nti weevuga oba nti wazimba, ekiseera bwe kituuka ng’ayagala okukukyalira alabe w’osula, olaba bw’odda mu kupalappalanya oba okumutwala awatali wawo.

Agamba nti abawala abamu bwe balaba nti oli bulungi mu nsonga z’ensimbi batera okukulemerako obutafiirwa mukisa ogwo!

Olaba omuwala gwe walaga ennyumba eteri yiyo bw’akomawo omulundi omulala nga talaze n’asanga muggalo oba okumutegeeza ng’awo we yakutwala bw’ajjawo obuzzi okukyala naye nga si wawo.

Ddamulira agamba nti omukwano bw’ogutambuliza mu kweraga, abamu bwe bakizuula batera okukwetegula anti obeera ofuuse wa kubuzaabuza.

Agamba nti abawala abamu olumulaga nti oli bulungi n’ebyetaago by’akusaba byeyongera.

Olaba bw’olemererwa okubituukiriza. Wano abamu we beesangira nga bafuuse abakumpanya oba ababbi okusigala ng’avujjirira omukwano gwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...