TOP

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba. Olwo ggwe loodi bwe bakuweeweeta n’olowooza nti olina ky’okoze naye nga bo bakukongooza bigere.

Manya 703x422

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba. Olwo ggwe loodi bwe bakuweeweeta n’olowooza nti olina ky’okoze naye nga bo bakukongooza bigere.

Bino bye biri mu kunoonyereza okwakoleddwa mu Yunivasite ya Brigham Young University eri mu kibuga Utah ekya Bungereza.

Mu kunoonyereza kuno abakugu baazudde nga ezimu ku nsonga eziremesa abakazi okumalamu akagoba mulimu ey’abasajja obutamanya kifo kituufu kisumulula busimu bw’omukazi, ekiri awo ku kakukufa.

Wabula ne beesiba ku sitayiro eya “sokota sokota” eyazuuliddwa nti erina emikisa 6 ku 100 okutuusa omukazi ku ntikko. Kino baagambye nti kiva ku kuba nti sitayiro eno erina emikisa mitono nnyo okukoona awantu wali awasumulula omukazi obusimu bwa laavu.

Sitayiro eno yo efuba kwekkatta munda ate olw’okuba mu bbakuli z’abakazi mubeeramu ebbugumu, ggwe wamma omusajja n’afuba okwevumbika.
Era kino kye kireeta abakazi abamu okwemazisa nga bali bokka, kubanga bamanyi we beekwata obusimu ne buta!

Kati nno kino kye kimu ku bireetera abakazi okwekoza nga abamazeemu akagoba. Waliwo n’abasajja abazito, kati  abakazi bwe bakoowa okubawanirira mu sitayiro eno, kye bava beekoza nti bamazeemu akagoba beewonye obuzito n’okubapika ebyo ebitatadde okwo oseeko n’ebiyinza okuba nga tebisanyusa ebiba ku musajja nga okuwunya akamwa.

Oba oluusi omukazi yayinza okuba nga ggwe omusajja wamuvumbiikirizza nga teyeetegese bulungi naddala okunaaba. Kubanga abakazi abasinga batya nnyo okuyingira mu kikolwa nga si bayonjo.

Okunoonyereza kuno era kwazudde ng’ekimu ku biremesa abakazi okutuuka ku ntikko bwe butasooka kubanoonya bulungi nga bagenda mu kikolwa. Kino kyalabise nga kiva ku basajja abasinga obutatendekebwa mu muzannyo guno.

Tebamanyi na we bakwata mukazi n’asumulukuka ate ekirala ekitiisa kwe kuba nti n’omuzannyo bwe gutandika, basirikira ddala be ceee! ne batavaamu n’akagambo kawa mukazi maanyi kwongera kusamba.

Kati abakazi bwe balaba kino kye bava beefuula abatuuse ku ntikko obutaagala kukanula basajja bano, nabo basigale nga beewaana nti bakikoze naye nga maliba meereere.

Ne bw’aba nga ye bba, era omukazi abyekoza amulage nti musajja awera aleme kugenda ku bakazi balala. Era okunoonyereza kuno nga kwafulumiziddwa ne mu katabo ka ‘Archives of Sexual Behaviour’  kwalaze nga abakazi abali wakati w’emyak 18-46  be bakabaka b’enkola eno.

Okunoonyereza era kwalaze nga omukazi afunye muudu y’akaboozi atwala ebbanga eritasussa ddakiika 13 ne sekonda 25 nga tannatuuka ku ntikko. Bw’azisussa ng’otandika okumwekengera nti waliwo ekikyamu.

Naye mu byonna era baazudde nti omusajja y’asinga okunyumirwa akaboozi naddala nga omukazi gwe yeegasse naye atuuse ku ntikko.

Kubanga yeewulira nti akikoze so ng’ate mu mazima amatuufu ye ggwe baba bakikoze kubanga agwa eri n’afuuka ng’ekibaata!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...