TOP

Mukwano gwange yansigulako omuwala

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2019

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange ennyo eyeegwanyiza mukyala wange n’atuuka n’okutwawula.

Tuula 703x422

Twasisinkana ne mukyala wange emyaka ebiri emabega ng’akyasoma kyokka gwe nali nkozesa nga katumwa yali mukwano gwange.

Mukwano gwange ono namwesiga nnyo era omuwala bwe yabanga n’ekizibu nga kiri wakati wange naye ng’amukubira essimu n’amuwa ku magezi.

Wabula oluvannyuma ate mukwano gwange ono yatandika okukwana mukyala wange nga buli kiseera asiiba amukubira amasimu.

Omuwala yasooka n’asirika wabula yalaba kimususseeko, kwe kuntegeeza nti mukwano gwange yali amulemeddeko ng’amutegeeza kimu nti beeyagale mu kyama.

Ebigambo bino byankuba wala ne mbisirikira wabula era ne nkiwa obudde naye omulenzi yasigala alemedde ku nsonga.

Waliwo lwe nasanga omuwala ng’agenda ewa mukwano gwange amuyambeko okumukolera ebbaluwa esaba omulimu nakyo ne kinkuba wala.

Mukwano gwange bwe yakitegeera nti mmuguddemu, ensonyi yazifuula busungu n’essimu yange ‘n’agibulookinga.’

Nange kye nakola kwe kumwesalako era ne bwe mmusanga tetwogera kyokka n’omuwala gwe yansigulako takyali naye.

Ndabula bavubuka bannange n’abaagalana bonna obuteesiga mikwano gyammwe mu nsonga z’omukwano kubanga abasinga babeera n’ebigendererwa birala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...