TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okukkiririza mu Katonda kizza laavu yaffe bupya

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu yaffe bupya

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2019

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera ng’agenze mu bufumbo kubanga kimanyiddwa nti obufumbo kye kitiibwa ky’omukyala.

Funa 703x422

Nze Rehemah Nakyewa nga mbeera Mityana ku Park-Villa. Bwe nnali nkyasoma, nafuna omuvubuka eyandya obwongo era nga nsaba Katonda mmalirize okusoma nga tebannamunzibako.

Okumanya nga Katonda akola ebikulu, okusoma tekwalwa nga nakwo kuggwa era nagenda okumaliriza nga ne munnange yanninda dda.

Okumanya nga twasiimagana, ne bwe yamanya nti nkyalina okumaliriza okusoma yasalawo okuhhumiikiriza kubanga naye yali awulira ng’omutima gwe nze ngulimu.

Ekisinga okunjagaza omwami wange ono, y’engeri gy’andabiriramu ng’ampa buli kye neetaaga ate mu budde.

Ne bw’aba nga talina ssente oba nga ziganyi, waakiri akunnyonnyola n’omanya embeera bw’eri naye era ng’abeera n’essuubi nti olwaleero bwe kiba nga kigaanyi ate enkya ayinza okukisobola.

Okumanya omwami wange ono nnamwagala, bwaba tanadda waka omutima gubeera mu kkubo munnange gye yagenze.

Ekisinga obukulu mu mukwano gwaffe kwe kuba nga buli omu ku ffe atya Katonda ate nga nkimanyi bulungi nti ekintu kyonna ekirimu Katonda kibeeramu omukisa era kitera okuwangaala.

Buli lunaku olukya nsabira omwami wange gy’abeera agenze ku mirimu afuneyo ekyo ky’abeera asinga okwagala naddala ssente olwo naffe tusobole okwezimba tubeereko mu bulamu obweyagaza okusinga bwe tulimu kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...