TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanzigya mu ssomero yeegaanye omwana

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2019

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Teekamu 703x422

Nze Grace Alowo 18, mbeera Kufu mu muluka gw’e Lusenke mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.

Mu 2018 nali nsoma P7 omuvubuka n’ankwana n’ansuubiza okukolera buli kimu era n’ansuubiza okunkuba embaga.

Nga naatera okutuula ebigezo byange, yanfunyisa olubuto era abazadde olwakitegeera ne bangoba awaka.

Natandika okubeera naye wakati mu kunkuba n’okunnangira. Baagezaako okumubuulirira n’agaana.

Mu August 27, omwaka guno, olubuto lwannuma ne hhenda mu ddwaaliro e Busaana okuzaala kyokka omusajja n’agamba nti olubuto si lulwe nga agamba nali nkyabuzaayo ebbanga okuzaala.

Yajja mu ddwaaliro n’ahhamba nti bwe mmala okuzaala omwana munoonyeze kitaawe.

Nali manyi asaaga kyokka bwe nadda awaka n’omwana n’ankuba era n’andagira mmutwale ewa kitaawe omutuufu.

Amazima gali nti omwana wuwe era omusawo eyanzaalisa yagamba nti omukazi bw’aba tazaalangako asobola okuzaalira ku myezi munaana n’ekitundu Nsaba bawala bannange okusooka okusoma kuba abasajja baliwo kutuukirizza bigendererwa byabwe tebalina mukwano gwa ddala.

Kati simanyi gye hhenda kudda wadde omusango twaguloopye ku poliisi. Ebbanga lye mbadde n’omusajja ono mpulira ng’ebyobufumbo bintamye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...