TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yafuna omukazi omulala bwe nagenda ewaffe

Omusajja yafuna omukazi omulala bwe nagenda ewaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 28th September 2019

NZE Mariam Nakato, mbeera Kawanda. Nafuna omwami wange mu mukwano omuyitirivu.

Lagayo 703x422

Tubadde mu mbeera nnungi nga buli omu yeesiga munne era nga sisuubira nti omwami wange ayinza okundyamu olukwe n’aganza omukazi omulala ebbali. Bwe nafuna olubuto lyali ssanyu gye tuli.

Kyokka bwe lwaweza emyezi ena ne nsaba omwami wange okugenda ewaffe nfune ku ddagala ly’okunaaba era n’anzikiriza Mu kyalo namalayo wiiki bbiri naye kyambuukako bwe nasanga omukyala mu nnyumba yange ng’atudde.

Namubuuza nga mmanyi mugenyi kumbe ye yali ammanyi bulungi. Teyahhanya na kutuula era yandagira okufuluma mu bukambwe nange kwe kumubuuza nti angoba ng’ani.

Yanziramu nti ye yali omukyala omupya mu nnyumba. Nneefuula ng’atawulidde nga ndowooza nti osanga yali mulamu wange ng’ayagala kungezesa.

Nnagenda okulaba ng’omukyala aggyeeyo akambe ansale kwe ku fuluma wabweru.

Yankasukira ebintu byange wabweru nange kye nnakola nga nkubira mwami wange ssimu okumubuuza ebyali bigenda mu maaso.

Bwe namutegggeza nti mukazi we yali ankasukidde engoye ebweru yanziramu nti nsooke nzireyo mu kyalo mbeere ewa maama okutuusa lw’alimpita.Nnakaaba amaziga kubanga n’obudde bwali buzibye nga n’omukazi yeggaliddde.

Kye nakola kwe kugenda ewa jjajja e Kawanda kubanga ye yandi okumpi era gye mbeera n’essaawa ya leero. Jajja yagezaako okwogera naye ku ssimu amubuuze obuzibu kwe bwava naye ng’amubuzaabuza okutuusa lwe yamwesonyiwa.

Kati olubuto luwezezza emyezi etaano naye simanyi kye nzizaako kyokka omwami wange nkyamwagala era njagala twogere ambuulire obuzibu bwange obwamuleetera n’okuwasa omukazi omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula