TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze tava waka nga talidde kyankya - Nantume

Baze tava waka nga talidde kyankya - Nantume

By Cathy Lutwama

Added 2nd October 2019

Kiki ky’otoyosa kukolera mwagalwa wo? Ayagala nnyo okulya ekyenkya era ne bw’aba anyiize nnyo, amala kulya n’alyoka agenda, agenda ng’akkuse. Kuba ssaagala muntu azira mmere, nze nnyinza n’okufa.

Momo2 560x315

Nantume ne bba Muganza.

Maureen Nantume, muyimbi mu Golden Band, mufumbo era muzadde. Alina abaana 
babiri Whitney asoma S6 ne Celine asoma mu middle class. Ng’oggyeeko okuyimba,
alina edduuka ly’engoye erya Chica Bridals Parlor e Makindye okumpi ne Calendar.
Yanyumizzaamu ne Ssenga

Lwaki watandikawo edduuka?
Nalaba nga nnina engoye nnyingi. Okugeza ngula gomesi ne ngyambalamu omulundi gumu ne ngitereka. Bwe nalaba nga nnina nnyingi kwe kutandika edduuka eritunda n’okupangisa engoye.

Obudde obuggya wa?
Mbeeramu naddala mu nnaku eza wiiki. Ate ng’oggyeeko okuyimba n’edduuka, ndi mukazi mulimi nga nnima emboga, bbiringanya, entula n’ebirala nga mbikolera ku bugazi bwa yiika emu.

 antume ne muwalawe Nantume ne muwalawe.

 


Kiki ekyakusikiriza okuyingira mu mirimu gino?
Obuvunaanyizibwa bungi, olina okuweerera, okubeezaawo abantu b’okuuma, okubajjanjaba n’ebirala nga bw’obigatta, ssente ziba
tezimala ng’olina okubaako ekirala ky’ogattako.

Kiki ekikufuula ow’enkizo ku bakyala abalala?
Ekintu kye nnina ekikulu kya butamalaako musajja wange mirembe kubanga mmanyi situleesi ezibeera mu bufumbo. Twalabagana nga tuli bantu bakulu ate buli omu yasanga munne alina emirimu gye ng’alina engeri gy’atambuzaamu obulamu bwe. Bwe mmukubira n’angamba nti ali ku mulimu, sibaamu waasiwaasi. Ekikulu omutima gwange nagugamba nti njagala Muganza era ne gutuula awo.

 antume bba amwagalako ffiga Nantume bba amwagalako ffiga.

 


Olwo abengambo tebabatawaanya?
Nze nnina ekizibu kimu nti simanyi kwagala bantu basukka mu omu, neekuumira omusajja omu. Ebigambo babyogera naye si kikulu. Kale waliwo ebyogerwa n’obuuzaako ku
munno oba kituufu kuba omuntu abuzaabuza n’akubuulira amazima omumanya.

Kiki ky’otoyosa kukolera mwagalwa wo?
Ayagala nnyo okulya ekyenkya era ne bw’aba anyiize nnyo, amala kulya n’alyoka agenda, agenda ng’akkuse. Kuba ssaagala muntu azira mmere, nze nnyinza n’okufa.

Mmere ki ye gy’oyogerako?
Yonna naye tekibangawo n’azira, sikyagala era saagala kibeewo. Kuba nkeera ne mpaayo obudde ne ngimutegekera.

Biki omwami wo by’atayagala?
Tahhambangako nti alina by’atayagala wabula kye mpulira ky’abuuliriza nga mmugambye nti hhenda kufulumamu
ebweru abuuliriza nnyo n’olaba ng’alinga alinamu okweraliikirira.

Olwo embaga ya ddi?
Tennalowoozebwako, naye Katonda nga ye mubeezi, erirowoozebwako. Sifa ku mbaga bwe mba nkwagala.

Bw’onyiiga obeera otya?
Nkaaba, kuba nnemererwa okuyomba, era mmuviira.

Kiki ekisinga okukunyiiza?
Saagala kumpaayiriza, abantu banjogeza nnyo bye soogedde ne nnema okwewolereza. Naye njagala omuntu n’ayogera ekintu nga bwe nkimugambye.

 antume ngali ne bba uganza ku siteegi Nantume ng'ali ne bba Muganza ku siteegi.

 


Naawe weetaaga ssente z’akameeza?
Ate nze akameeza nkeetaaga nnyo kuba ndi mufumbo, waliwo atayagala ssente? Era bwe bazimpa, ngula ebintu bya wiiki naye bwe mba hhenda kutambula, mbigula lumu mu bungi ne bibaawo. Era bwe bampa ezitammala, nneeyongerezaako okusinziira ku bye njagala okugula.

Biki ebikusanyusa?
Njagala nnyo abaana bange, okubatwalako awutu ne ntuulako nabo ne tulya ekyemisana. Njagala nnyo n’okugula ebintu.

Biki ebisanyusa omwami wo?
Ahhamba nti mmulabikira bulungi, era ayagala nnyo engeri gye nakulamu, amaaso gange, lwakuba agamba ndi mukambwe.

Mu myaka 10 egijja weeraba wa?
Seeraba nnyo wano mu Uganda kuba njagala nnyo okugenda e Bulaaya ne famire yange.

Obubaka bwo eri ;

Abawagizi

Nsooka kubeebaza nti ng’ensi tennammanya be baasooka okundaba, mbaagala nnyo era nsaba Katonda abongere okwagala ennyimba zange.

Abafumbo;

Mubeere mu bufumbo, wadde nga waliwo obukaluba, mubukwase Katonda kubanga era ne bw’ovaayo, olina okunoonya omwagalwa omulala.

Abavubuka abanoonya;

Abanoonya omukwano, musooke munoonye Mukama kuba y’amala byonna. Teri kirungi ng'okwagala akwagala ate teri kirungi nga okufumbirwa mukwano gwo. Era bw’ofuna omuntu akwagala ate nga mukwano gwo, obwo obufumbo buba bujja kutambula bulungi.

Abali mu bufumbo mwagalane mu bufumbo bwammwe, abagenda ku mpeta Mukama awe emikolo gyammwe emikisa.

antume ku siteegiNantume ku siteegi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...