TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy’otega akamasu ne kakwasa

Engeri gy’otega akamasu ne kakwasa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2019

OMUKWANO gulinga kutega nkofu, bw’ogitegesa kasooli buli lunaku etuuka ekiseera n’ebuuka nga tokyasobola kugikwasa ate n’odda ku ky’okutegesa omuguwa. Bwegutyo n’omukwano kyeguva gusaanidde okuyiiyiza buli kiseera.

Kamasu4 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano

OMUKWANO gulinga kutega nkofu, bw’ogitegesa kasooli buli lunaku etuuka ekiseera n’ebuuka nga tokyasobola kugikwasa ate n’odda ku ky’okutegesa omuguwa. Bwegutyo n’omukwano kyeguva gusaanidde okuyiiyiza buli kiseera.

Ennaku zino abaagalana n’abafumbo bangi abali mu mukwano oguyuuga. Omusajja abeera bbize ate nga n’omukyala talina kipya ky’akolawo okinaaleetera munne okwerekereza byonna okulaba ng’amutuukako mu budde.

Ekimu ku bintu by’otoyinza kujja mu mukwano kwe kutega akamasu. Okutega akamasu kwe kukozesa obubonero bw’omukwano ‘obutayogera’ wadde ng’oyo gw’oba obukolera kimukakatako okubuggyamu obubaka.

Obufumbo bungi weebuli kyokka nga temuli mukwano wadde ng’omukwano gwe gukuuma obufumbo noolwekyo omukyala eyeetaaga okugumya n’okuwangaaza obufumbo, tosaanye kusuulirira kutega kamasu nga weekwata engeri zino wammanga ng’omukugu, Joyce Tomusange bw’alambika.

 mukyala nganywa akatunda mu biseera bye ebyeddembe Omukyala ng'anywa akatunda mu biseera bye ebyeddembe.

 

1. OKWEKUUMA NG’OBUGUMA

Ebbugumu kintu kikulu nnyo eri omusajja mu kumusumulula kyokka abakyala ennaku zino bannyogoga ebitagambika omusajja n’atuuka okumukwatako ng’alinga omusota!

Kino kivudde ku kubeera nti abakyala nabo bakola nnyo ennaku zino. Omukyala adda awaka nga buyise n’ayingira ekiyigo n’anaaba ‘capucapu’, bw’avaayo tatwala nabudde kwesiimuula kukala olwo ngayingira obuliri.

Omusajja agenda okumukwatako ng’omusota gumusinga kubojja, anti annyogoga alinga omuzira! Omusajja agenda okutuuka Kampalamukadde ng’akyannyogoga, amazzi ge yanaabye gakyaliyo.

Mu mbeera eno, omusajja ne bw’aba abadde akumye bulungi omuliro nga gutandise n’okuleeta ennimi azikira buzikizi n’abeera nga gwe bayiyeeko amazzi.

Omusajja anyumirwa akutte ku mukazi ng’abuguma.

Kino omukazi akikola ng’anaaba mu budde n’ayambala engoye ezimubugumya olwo munne n’amusanga ng’abuguma bulungi olwo ne ziryoka zidda okunywa!

 muwala ngateze akamasu Omuwala ng'ateze akamasu.

 

2 OKWEYONJA N’OKUYONJA EKISENGE

Kino abakyala edda baakikolanga n’adda awaka ng’omwami tannadda ne yeeteekateeka n’ateekateeka n’ekisenge omusajja agenda okudda nga buli w’akuba eriiso wamusanyusa, ky’akwatako kimunyumira kwegamba n’abeera ng’ayoya kimu kumwebaza.

Ky’ova olaba omukyala ekika kino asobola n’okufumbira omusajja emmere eboobedde n’afuna n’obudde obufumba enva z’oku bookisi.

3 YIGA OKUTEEKA AKAYEMBE MU KISENGE

Mu kisenge ky’abafumbo mwabangamu omukeeka n’akatebe, kyokka nga bino omukyala yabikozesanga ng’emmanduso ye oba ke wandiyise akamasu.

Kyakola nga mu kisenge ateekayo ekitundu ky’omuyembe gwe ku kasowaani

n’ateeka ku kameeza k’omu kisenge n’abikkako. Bwe baayingiranga ekisenge ng’addira omuyembe n’asalako, n’awa omusajja.

 muwala ngayambadde obutiiti Omuwala ng’ayambadde obutiiti

 

Olw’okuba omusajja abeera ku buliri alaba ng’eky’okuliira mu buliri tekijja, ky’akola ng’akkakkana wansi ku mukeeka omukyala gwe yayaliridde edda asooke alye omuyembe gwe.

Olw’okuba kiba kizibu omusajja okutuula nga tagaziyizza maggulu, n’omukyala ky’akola ng’ajja amutuula wakati mu magulu oba ng’amutunuddemu oba amukubye mugongo.

Mu mbeera eno, omuyembe gugenda okutuuka wakati ng’akamasu kaakwasizza dda.

Kyokka kino ne bwe gutaba muyembe osobola okukozesa ebintu ebirala ng’ omucungwa, apo, oba ekyokunywa kyonna ekikwanguyira.

4. AKAKODYO K’ENTUULA

Kano akakodyo kakozesebwa nnyo abawala abakyanoonya abatera okubeera mu bifo ebisanyukirwamu nga mu ndongo, ku mbalama z’ennyanja n’ebirala.

N’osanga ng’omuwala atudde ku ntebe atunudde mu basajja naye ng’engeri gy’azannyisaamu amagulu eriko obubaka bw’etuusa eri abasajja.

Kino omukyala omufumbo naawe osobola okukikola n’otega akamasuko naddala ssinga oba oyambadde olugoye nga lulagako katono ku bisambi, n’otuula mu maaso ga balo n’otandika okuzannyisa amagulu mu ngeri ey’essimbo ng’olinga amugamba nti nina ekinsiiwa mu magulu ekyetaaga okutakula.

 muwala ngayambadde akagoye akakema Omuwala ng'ayambadde akagoye akakema.

 

Bwe munaayingira mu kisenge ennamusa ejja kutuuka ku nnyooge.

Olw’okuba kano katwalibwanga nti kakodyo omukazi k’asobola okuyitamu okubaako ky’atuusa eri omusajja ky’ova olaba kiba kivve omuwala okutuula ng’atunudde mu ssezaalawe kuba kiyinza okumuleetera okulowooza ebirala mukamwana ne bw’aba nga ddala mu butuufu tabiriiko.

5. OKWEKUBA AKAWOOWO

Akawoowo nako kakozesebwa nnyo abawala abato okusikirizza omusajja kuba amazima mulimu omukazi oba omuwala akutega kapafyumu nga toyinza kumuyitako n’otasikirizibwa kutunula mabega.

Kino abakyala balina okukimanya nti ne bw’oba tolina gy’olaga tekiriimu sitaani kwekuba kawoowo, kuba abasajja empunya y’omukyala yokka emulowoozesa ebirala.

Naye n’abasajja beetaaga okubikka ku maddu. Bw’oba osanze akawala akeekubuye akawoowo akasikiriza, mu kifo ky’okukaganza, waakiri kabuze ekika ky’akawoowo ekyo okagulire omwagalwa wo.

6. ENTUNULA N’ENJOGERA.

Okwagala wabaawo emmanduso kwe kuva. Waliwo abasajja ng’enjogera yokka emutengula. Olw’olumu omukyala kyetaaga n’oyogerako ng’osimba amannyo mu ddoboozi lya sitIiriyo, mazima munno ne bw’anaaba tatenguka munaagenda okutuuka emboozi wakati ng’amalusu amira muganda.

Ku njogera bwetyo bw’onoogattako entunula gye bayita ey’ekimbejja,( eno omusajja bw’omutunuulira mu mmunye ate ng’olinga atya omutunulamu) ssaako okukwatakwata ku maaso nga bw’ogakunya oluusi gamyukiridde n’okumyukira mazima omusajja okuggyako ng’aliko ekitali kituufu ayinza obutakulinda nakuva mu ddiiro we mutudde.

7. OBUYIMBA

Kino osobola okukikola mu ngeri bbiri. Bw’oba olina eddobbozi osobola okuyimba akayimba k’omukwano ate atalina ddoboozi sseeneekerevu osobola okuteeka obuyimba bwo ku leediyo n’oyisaawo obubaka bw’ekyo ky’oyagala.

8. OKUNYEENYA EKIWATO

Waliwo abawala oba abakyala abamu ng’ekikula kye kyennyini kitega akamasu,

okugeza omukyala omunene osobola kunyeenyaamu katono ekiwato omusajja n’atengukirawo, ogenda okulaba ng’abadde

ayogerera waggulu atandise okumira amangota nga bw’adoodoomya eddoboozi.

musajja akwatiddwa mu kamasuOmusajja akwatiddwa mu kamasu.

 

9. OKUSSAAWO EMBEERA Y’OBUZANNYO BWA ‘JANGU ONKWEKULE’

Buli mukazi alina okukimanya nti okuzannya kirungi nnyo era kinyumira nnyo abasajja.

Bw’aba akomyewo mukube ka peeke ku ttama ,aba akyawoza, ‘... nze bino sibyagala..’ ng’abamu bwe batera okweyisaako ng’eno ate omuwa akafuba, anaagenda okumaliriza

okuggya engatto mu bigere ng’ekisala budde mwakimaze dda.

Omusajja ono buli lw’anaddanga tandika okussaawo akazannyo akapya, okugeza, olumu osobola okumuyita nga weefudde alina ky’amugamba n’omugamba nti, “..bbebi mbadde njagala kuwulira ku ddoboozi lyo..

.“ Kino kijja kumukuuma ng’amwenya buli lw’akulowoozaako ng’agamba nti, wabula omukyala ono!!, Kyokka n’abasajja balina okukomya okukaabanga obwavu buli lwe bakomawo awaka, kubanga kino kyogera okumalamu omukazi amaanyi n’essuubi ly’omukwano gwammwe n’alaba nga liseebeengerera.

10 . OKUTONA

Kituufu abakyala balina kuweebwa nga bwe baakikwata, kyokka naawe omukyala osobola okuyita mu kutona n’otega akamasu ko ate ne kakwaasa.

Gula kasswiiti oba onoge akamuli ku nsikko, omusajja bw’adda mugambe, “..bbebi zibiriza nina kye nkugamba omuteeke akamuli mu ngalo omugambe funnya bw’anaazibula nga kamuli ky’ajja okusooka okukola kukakuba era awo mu njogera y’ekyejjo oyinza okumwanukula nti ,“... Mwana ggwe Peter bw’otyo bw’okoze...”

Nkukakasa olw’obutayagala kukunyiiza y’ajja okukalondayo gy’akakasuse ate nga musanyufu era gye binaggweera nga muli mu mapenzi awo anti ng’akamasu ko kwakwasizza.

 

11. OKUPIKA EBBEERE

Tewali bbeere litasoboka ‘kubiipinga’ ne bwe liba lyagwa ng’abakyala abamu bwe batera okwekwasa. Ebbeere bweriba lyagwa osobola ‘okulipaakinga’ bulungi mu kaleega, omusajja n’atunula ku kifuba kyo naddala we gakolera ennyukuta nga eya “V” n’atayoya kukwambula alituukeko.

Ebbere eryagwa ng’obadde olipaakinze bulungi omusajja atuuka mu buliri n’alivuubiika nga tategedde nti lyeliri eribadde lifaanana nga kondomu gye bayiyeemu amazzi.

Omukyala ky’oba okola funa akaleega mu langi encamufu oyambalireko akawale k’omunda nga nako kafaananya langi ng’akaleega, olwo oyambale akateeteeyi akakukwata obulungi, naddala nga ffiga yo ogyesiga. Ffiga bw’eba tenyumira bikukwata, yambala akagoye akatangaala, oba akatimba olyoke olumbe.

Nkakasa nti omusajja ajja kukukubako eriiso limu ery’okubiri ojja kulaba nga limyuse okukira ery’endegera, era tayinza butakutwalako Namboole omulambuze amasaza ga Buganda. Ojja kwesanga ng’omulambuzza n’ag’e Bunyoro nga n’amafuta gaayo ogamugabidde agasime nga bw’asiimye.

 

12. ENSIIBULA Y’OMUSAJJA NG’AGENDA OKUKOLA

Ekiseera oba obudde obusembayo ng’osiibula omusajja kikulu nnyo kuba bwe busalawo omusajja okubeera ng’akulowoozaako oba nedda.

Buli lunaku kyandibadde kirungi okusiibula omusajja ng’omulese alina ky’agenda okusiibako ng’alowoozaako.

Okugeza oyinza okugera ng’afuluma agenda ku makya n’omukuba akawuna bw’olaba ayagala okukakuddiza n’odduka n’osibawo ennyumba n’agenda ku mirimu ng’akimanyi nti alina ebbanja lyo ery’okukuddiza akawuna era waddira kwe mutandira ne guttuka buto. 

 

13. OKWAMBALA

Omukyala yenna tayingira buliri ng’ali bukunya nga bwe yazaalibwa. Wabula kino tekitegeeza kwekapika ngoye.

Ekyambalo ky’omukyala mu kisenge buba butiiti. Omukyala obutiiti ky’okola obukwata n’obutereka mu buliri ku ludda lwe yeebakako.

 

Bwotega bwoti kyangu okukwasa.

Bw’olaba omusajja ng’ayingidde obuliri, olwo n’omusaba okuggyayo ku bintu byo. Wano kunuukiriza obisikeyo. Kino bw’onookikola, ojja kwesanga ng’omuyisizzaako amabeere ate nga gabuguma.

Bw’omala okubuggyayo kyuka ng’omukubye omugongo olyoke obwesibe olwo okyuke omutunuulire. Munno bw’anaaba mulamu bulungi, onooba tonnabugumya buliri ng’emikono gyatandise dda okuyitihhana, kubanga omusajja bw’anaakubamu obufaananyi bw’obutiiti obumasamasa n’agattako ebbeere lye wamuyisizzaako tayinza kusigala kye kimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.