TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala gwe nnalinamu esuubi yali muyaaye

Omuwala gwe nnalinamu esuubi yali muyaaye

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2019

OMUSAJJA yenna ky’asinga okwagala mu bulamu lwe kufuna omukyala amussaamu ekitiibwa n’obutamugattika na musajja mulala.

Near 703x422

Nze Wilfred Mugume Kifeefe, ndi mutuuze w’e Lusaze - Lubaga. Nalina mukwano gwange omulenzi nga tukolagana bulungi mu buli kimu era ng’ankolera buli kye mba mmugambye.

Olw’okuba nnali mmwagala nnyo era nga mmwesize, nalowooza nti osanga naye ajja kunkolerako kyenkana buli kye njagala kyonna.

Mukwano gwange ono yalina mukwano gwe omuwala ng’anyirira okufa ekyantengula emmeeme ne nnoonya engeri gy’ayinza okufuuka mukwano gwange.

Engeri gye kyali nti omuwala ono yali mukwano gwa mukwano gwange, nawalirizibwa okumugamba amuntuseeko era naye teyali mubi n’amunsabira ennamba y’essimu.

Bwe yamaliriza okumuwa ennamba olwo nange ne ndowooza nti kati buli kimu kiwedde. Namukubira wamma ne ntandika okunnyonnyola ensonga zange.

Okumanya nnayagala omuwala ono, nafuba okumutuusaako buli kye yansabanga kuba nnali mmweguya era katono ankalize. Nakizuula luvannyuma nti yali muyaaye.

Omuwala yali atugattika n’abasajja abalala wamma ne ntandika mpola okumwesalako.

Gwe nnali mpa 50,000/- ne ntandika kumuwa 10,000/- ne ntuuka ne ku 5,000/- okutuusa bwe natandika nga sikyamuwa ne bwazinsaba atya.

Ebbanga kasita lyayitawo nga tuli mu mbeera eyo, natandika okulaba nga takyanzijira era awo we namanyira nti naye alabika akitegedde nti muguddemu.

Kasita nnamulaga nti nange sirina ssuubi lya kumuddira olw’embeera ze embi ze yandaga era mu kutandika okunnekengera yatandika okuneewala nange ne mmwesonyiwa era kati nninda lwe ndifuna omutuufu nziremu eby’omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...