TOP

Omukyala yansuulira omwana n'agenda e Juba

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2019

KABEERA kaseera ka ssanyu omuntu yenna okuzaala omwana kubanga kye kiraga obukulu bw’omuntu n’obuvunaanyizibwa. Nze Joseph Bigirwa, mbeera Bulenga.

Kakaka 703x422

Nafuna omukyala eyali anyirira okuzaama era ne nfuba okulaba nga waakiri mmuzaalamu omwana kye nalowooza nti bwe mba muzaddemu nja kuba mmuwangudde naye si bwe kyali.

Omukyala ono alinga eyali agamba nti olubuto lwe lwali lumusibye ewange era olwamala okuluzaala n’akola ekintu ekitakoleka muntu wa mutima gwa kizadde kubanga nnali ndi awo ng’ahhamba nti ayagala kugenda Juba kutandika kukola.

Nasooka kulowooza nti osanga yali asaaga kuba yali akyali na nnakawere wabula saamanya nti waliwo eyali amulidde omutima ng’ali Juba.

Omukyala ono yansuulira omwana nga simanyi na wakutandikira era nange ne mmutwala ewa Ssentebe w’ekyalo ne ntwalayo okwemulugunya kwange era n’anzikiriza okubeera n’omwana ono.

Omwana namutwala ewa jjajja azaala taata kuba nnali nsinga kubeera ku mulimu era ono ne Katonda be bannyambako okulabirira omwana era n’avaamu nga kati yatandika n’okusoma ng’ali mu S5 kati.

Ebyo wadde byali bityo, ekyanneewuunyisa ye mukyala ono okunkubira essimu ng’agamba nti ayagala kudda ewange afumbe ng’ate nawulira nti yali afunye omusajja omulala e Juba eyamupaaza. Okuva olwo, nnawummula eby’okuwasa okutuusa lwe ndifuna omutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...