TOP

Nkoze ntya okufuuka nnamba emu?

By Musasi wa Bukedde

Added 5th October 2019

SSENGA ndi mukyala ow’ebbaali naye njagala kufuuka mukyala nnamba emu ng’omwami wange teyantogoza wabula ampita ne twegatta n’ampa ne ku ssente. Ssenga nkola ntya okufuuka nnamba emu?

Spirit 703x422

OMUSAJJA y’alina okusalawo okukufuula mukyala nnamba bbiri. Bw’olaba ng’omusajja alwawo, ng’omanya nti akukozesa.

Kati oba akuyita ne yeegatta naawe n’akuwa ne ku ssente, kitegeeza nti wafuuka muganzi we, naye ndaba omusajja ono akwendako bwenzi.

Omusajja bw’amala okwegatta naawe n’akuwa ssente aba akwendako. Kubanga omusajja ng’akutwala nga mukyala we, alina kukuyisa nga mukyala we.

Yandibadde akyala ewuwo bulungi n’obeeranga omukyala kennyini naye ebintu bya loogi tayagala kumulaba.

Omusajja ono kennyini y’alina okusalawo okukufuula mukyala we. Naye ate embeera gy’akuyisaamu eraga nti toli mukyala we wabula muganzi we.

Omukyala abeera mu maka era ng’omusajja atwala obuvunaanyizibwa okulabirira amaka ago. Ayinza okuba nga yakupangisiza ennyumba oba yakuzimbira, oyinza n’okubeera mu muzigo naye ng’afaayo okulabirira n’abaana bo.

Ate ng’olaba gye mulaga ng’alaga nti oli mukyala era ayagala kutongoza. Naye ono si byaliko. Okukuyita ne yeegatta naawe obwo si bufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata