TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amaanyi g’ebbomba eteriiko kiwujjo

Amaanyi g’ebbomba eteriiko kiwujjo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th October 2019

NZE toyinza kundesa musajja mukomole kubanga abeera muyonjo ate asamba 90 n’amalako.

Bomba1 703x422

Omusajja ng’apika ebbomba epika omukka mu ggaali

NZE toyinza kundesa musajja mukomole kubanga abeera muyonjo ate asamba 90 n’amalako. Nze Jane Frances Nabandeke, mbeera Mukono. Nasookera ku musajja atali mukomole nga tusoma S2 era ye yakutuza embuzi yange.

Omusajja ono namwagala nnyo naye nga bwe kituuka mu kwegatta, atuuka okumala nga sitambuddeeko wadde ebigere ebibiri.

Ng’atuuka okumalamu akagoba n’akuba otulo ne nsigala nga nkyalindiridde nga ndowooza nti oba anaazuukuka n’atandikira we yakomye naye nga wa! Okutuusa bwe twayawukana ne nfuna omulala.

Nawuliranga bagamba nti omusajja omukomole anyuma, nga simanyi kye kitegeeza.

Natandika okweroboza mu basajja nga njagala Musiraamu kuba nali nnoonya musajja mukomole ndabe bwe bibeera.

Nafuna omuvubuka mukulukulu ne twagalana, naye omulundi gwe nasooka okwegatta naye sirigwerabira.

Olwokuba yansanga n’ekyoyooyo, nze nneekwatira bbomba ne tutandika okunyumya akaboozi naye ng’omutwe gwe muyonjo ate nga guweweera nga gunyuma okuweeweeta okukkakkana nga ngukubye mu ttama.

Tuutwo mu kisaawe ngenda okulaba ng’ayise we nali mmanyinga tayimiriddeemu.

Akaboozi  twakanyumiza essaawa bbiri bwe ddu! Ate nga tunyumirwa.

Kyanneewuunyisa nnyo kubanga gwe nasookerako nga n’oluusi oluba okuyingira ng’agwa eri, n’owulira ng’obusungu bukutta.

 seruwu ngannyonnyola Sseruwu ng’annyonnyola

 

ENJAWULO Y’OMUKOMOLE N’ATALI

“Ebbomba eteriiko kiwujjo eyawukanira ddala n’eriko kubanga alina eriko ekiwullo abeera n’ennyonyoogeze nnyingi, oluusi ekimwanguya okumalamu akagoba.

Kino kiri bwe kiti kubanga omusajja bw’ataba mukomole, ekikuta ekibikka omutwe gw’obusajja kigukuuma nga guweweera, era nga gulimu amasannyalaze mangi.

Olwo bwe gutuuka mu bukazi n’afuna n’ebbugumu, ekivaamu kumalamu kagoba.

So nga ku mukomole, omutwe gw’obugajja engeri gye gubeera ebweru, ne bw’atuuka mu bukyala teyeekanga nnyo ekimuyamba okusamba ekyenda,” bwatyo Kabakuuku Baligeyankoona Sseruwu e Busunju bw’agamba.

Agattako nti; Ate nze nakizuula , bw’oyingira akapiira ne kataba obulungi nga toli mukomole, obusajja butuuka munda ne bukwata era buli lw’oba ng’afuluma obeera ng’ekigere ekikwatide mu bbumba n’olyoka owulira ate nga mwembi munyumirwa ekitabeerawo nga bakuggyeko ekikuta.

Era kizibu nnyo okuseerera n’okoza ku ttaka ng’olina ekikuta kubanga kibeera kyekutte munda mu bukyala naye ate ekibi ekiriwo, obuwoomi obwo bukusukkirirako n’otuuka mangu ku ntikko so ng’ate omukomole alwawoko era wano omukazi w’afuniramu.

Ye Sam Ssegirinnya omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu SROP International agamba nti mu mukwano, engeri yokka gy’osobola okulya n’owoomerwa obulungi ng’omanyi nti munno muyonjo ate nga mulamu bulungi.

Abasajja abamu beegatta ne batanaaba kutukula, emmere yonna gy’aba alidde n’ekwatira wansi w’ekikuta n’egegera ekitegeeza nti temujja kuva mu ddwaaliro.

Kubanga obucaafu obwo bujja kuvaamu endwadde ezitali zimu ate ozisiige munno.

Era buli lwe musirikira obulwadde obwo bwo bweyongera kulya ekivaamu nga mufuna amabwa mu bitundu by’ekyama ekiyinza okubabeerera ekyangu okufuna akawuka ka siriimu.

Ate ne bw’obeera ggwe n’okimanya nti munno tasobola kuyonja busajja bwe, ekyagala kibula, ekibuza essanyu awaka kubanga mutuuka ne mu kwenoonya nga toyagala kumusanyusa ate ekitabeerawo ku musajja omukomole.

Dr. Robert Ssooka omukugu mu kukomola okuva mu ddwaaliro ly’ettendekero ekkulu e Makakerere annyonnyola nti okukomola kwe kuggyako akasusu ku busajja nga tukozesa emitendera mu nkola ey’ekisawo.

Era omusajja yenna agenda okukomolebwa, balina okusooka okumutuuza ne bamusomesa byonna ebikwata ku kukomola ne bamubudaabuda bulungi ne balyoka bamukolako.

Okunoonyereza kulaga nti bw’okomola omusajja omu, obeera otangidde abantu abasoba mu16 okufuna akawuka ka siriimu. Era kiteeberezebwa nti abasajja abasoba mu 3,000,000 be bakomolebwa mu malwaliro okuva kaweefube ono bwe yatandikibwawo mu 2007.

Kyokka jjukira nti waliyo abakomolebwa ku mizikiti ne mu byalo okuva mu mawanga ag’enjawulo. 

 musawo ngategeka okukomola omusajja Omusawo ng’ategeka okukomola omusajja

 

AMAANYI G’OMUKOMOLE

Emigaso gy’okukomola emikulu giri etaano. Era nga kino kikolebwa n’ekigendererwa eky’okukendeeza ku mikisa gy’omusajja egy’okufuna akawuka ka mukenenya ssinga abeera yeegasse n’omukazi akalina.

Enkola eno eyambako okukendeeza ku mikisa gy’omusajja egy’okufuna akawuka ka siriimu n’ebitundu 60 ku buli100.

1.Okukomola kukendeeza ku mikisa gy’okufuna endwadde z’ekikaba naddala ezireeta amabwa mu bitundu by’ekyama omuli kandida, kabootongo, enziku n’endala.

2. Ekirala, okukuuma obuyonjo mu basajja kubanga bw’obeera omukomole, kikwanguyira okuyonja obusajja bwo okusinga obutali bukomole. Abasajja abamu tebasobola kufunyululayo kiriba ekyo kukizza wansi kusobola kwerong-oosa, mu mbeera eno okukomola kijja ng’obujjanjabi.

3. era bwe bakukomola, emikisa gy’okufuna kookolo w’obusajja oba okusaasaanya akawuka ka HPV mu bakyala nagyo gikendeera.

Ye Dr. Jonathan Musana omukugu mu kujjanjaba obulwadde bwa siriimu okuva mu ddwaaliro lya Uganda Cares agamba nti abasawo abakugu abanoonyereza ku kawuka ka siriimu bakola ekisoboka okulaba nga teri bantu bapya baddamu kufuna kawuka ka mukenenya ng’erimu ku makubo agayinza okutuyamba okumalawo obulwadde buno mu ggwanga nga tetunnatuuka mu mwaka 2020/2030.

Mu mbeera eno, abasajja bwe bakomolebwa, kikendeeza okufuna n’okusaasaanya akawuka n’ebitundu 60 ku buli100 mu basajja abakomole.

4. era okunoonyereza kulaga nti omusajja atali mukomole, wansi w’ekiriba ky’obusajja bwe wabeerayo obutoffaali obusikiriza akawuka ka siriimu okubudamirayo ekitegeeza nti abasajja abatali bakomole, obusobozi bw’okufuna akawuka gubeera waggulu nnyo ekitali ku bakomole.

5. ekirala, wansi w’ekiriba ky’obusajja wabeera wabisi buli kiseera ate nga wabuguma bulungi ekisikiriza obuwuka okwekweka n’okuzaalirayo.

Emyaka mingi egiyise, abasajja bokka be babadde baganyulwa mu nteekateeka kyokka kati, okunoonyereza kulaga nti omusajja bw’abeera omukomole n’abakyala

 ndaba otya musajja ngayolesa akawale komunda
Ondaba otya. Omusajja ng’ayolesa akawale k’omunda

 

baganyulwamu kyenkanyi.

  • Era kyazuulibwa nti abasajja abatali bakomole batambuza akawuka ke bayita “ human papilloma virus” (HPV). Akawuka kano keekweka eyo wansi w’ekikuta nti omusajja atali mukomole ne bw’aba anaabye, kasigalayo. era ssinga yeegatta n’omukyala, asobola okukamusiiga wabula ate ye omusajja tekamukosa era talina ky’alaba ku busajja bwe. Naye bwe katuuka mu mukyala, ate ye kamuyisa bubi kuba kamuleetera kookolo w’omumwa gwa nnabaana. era nga kiyinza okumutwalira emyaka10 okutandika okufuna obubonero okuva lw’afunye akawuka kano okuva ku musajja gwe yeegasse naye.
  • Okukomola kigendererwamu obutafuna kawuka ku mukyala ssinga abeera akalina naddala ng’omusajja takalina nga naye bw’aba akalina, obusobozi bw’okukasiiga omukyala bubeera bukendeera.
  • Era omusajja bw’aba akomolebwa, obusobozi bw’okukafuna n’okusiiga mukyalawe endwadde z’ekikaba bukendeerera ddala naddala ezireeta amabwa n’emikisa gye egy’okufuna akawuka gikendeera.

 

 

 

By’olina okwekkaanya nga bakukomodde

WEEYISA OTYA NGA BAMAZE OKUKUKOMOLA?

Dr. Ssooka annyonnyola nti bwe bamala okukukomola, oyambalirawo andaweya yo ate ng’ebiseera ebisinga gy’ogenderamu bagikuwa ku bwereere nga mpya. era osobola n’okuddayo ku mulimu gwo n’okola ne watabaawo akutegedde.

Ekiwundu kino kiwonera mu wiiki bbiri zokka kubanga kibeera kitono nnyo. Wabula olina okuyisaawo wiiki mukaaga okuddamu okwegatta kiyambeko ekiwundu kyo okuwonera ddala.

Olina okukuuma ekiwundu nga kiyonjo. Toteekako ddagala lya kinnansi era tomira ddagala abasawo lye batakuwadde.

Wanirira obusajja mu andaweya ebukwata obulungi obutunuze waggulu okumala wiiki bbiri.

Ekiwundu bwe kiba kikutte nga kikaze bulungi, olina okuddayo mu ddwaaliro oluvannyuma lwa wiiki mukaaga bakukebere okulaba oba nga tewafuna buzibu bwonna.

Ate ssinga obeera ofunye obuzibu , ddayo mu ddwaaliro gye baakukolerako bakujjanjabe era nabwo obujjanjabi n’eddagala ebikuweebwa bya bwereere okutuusa lw’otereera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.