TOP

Engeri gy’otuusa obubaka ku munno

By Musasi wa Bukedde

Added 7th October 2019

Abasajja bo oluusi banguyirwa okwogera kye baagala, naye ate bwe gutuuka ku bakazi bangi babunira bubunizi, olwo omusajja n’akola by’ayagala.

Bubaka2 703x422

Abaagalana nga beekubye oluuso

ABAAGALANA oluusi babuusa amaaso ensonga y’okuwuliziganya nga bali mu kisenge.
 
Abasajja bo oluusi banguyirwa okwogera kye baagala, naye ate bwe gutuuka ku bakazi bangi babunira bubunizi, olwo omusajja n’akola by’ayagala.

Abakazi abamu bagamba nti oluusi okwogera kuyinza okulema, naye balina bingi bye bakola nga ssinga omusajja afaayo ategeera obubaka munne bw’aba ayagala okumutuusaako.

Christine Nabukenya, abuulirira abafumbo ng’abeera Wakiso yagambye nti  abaagalana bayinza okukozesa ebintu eby’enjawulo buli omu okutuusa ku munne obubaka nga bali mu kisenge omuli.

 

1. Amaaso. Abaagalana  muteekeddwa okukozesa ennyo amaaso gammwe naddala nga waliwo abantu be muli nabo mu nnyumba. Munno osobola okumutemyako n’eriiso limu n’ategeera ky’otegeeza era ojja kulaba ng’atuuse w’omwagala mu bwangu. Ssinga munno omunyigira ku liiso era ajja kutegeera nti omukakasa nga bw’omwagala.

 

 baagalana nga beekubye oluuso Abaagalana nga beekubye oluuso

 

2. Olulimi. Osobola okukozesa olulimi munno n’ategeera ky’oyagala. Kino okusinga abawala be batera okukikozesa. Ayinza okusowolayo akasongezo k’olulimi mpolampola n’akazannyisa wakati mu mannyo mu ngeri ya kookoonyo n’okuwoomereza. Omusajja amany ensonga bw’alaba kino amanya munne gy’amutwala era kizibu okuwalira.

 

3. Ebigere. Bwe mubeera mu ddiiro oba ku mmeeza nga mulya, osobola okuyisa amagulu n’okoona ku munno mu ngeri y’okumunyonyoogera. Mu kusooka ayinza okwekanga naye bw’anaakutunuulira naawe n’omunyigira ku liiso ajja kumanya obubaka bw’oyagala okumuweereza era ajja kubwanukula.

 

4. Omutwe. Munno osobola okwogerezeganya naye ng’okozesa omutwe osobola okugunyeenya ng’oguzza gy’oyagala munno agende, okugeza mu kisenge. Ate ku ludda lw’omukazi bw’asangibwa ng’alina enviiri mpanvu aziwuuba azizza ku ludda gy’akwagala era wano omusajja omukujjukujju abeera yategedde dda ekyokukola.

 

5. Emikono n’engalo. Bino bye bisinga okutuusa obubaka mu nsonga y’okuwuliziganya naddala nga muli mu kisenge. Osobola okukozesa emikono gyo munno n’omukwata mu bifo byenkizo era wano ne bw’oba toyogedde kigambo kyonna obeera wamubuulidde dda kyoyagala mukole.

 

6. Eddoboozi. Ebiseera ebisinga kasita owulira nga munno abadde aboggoka akyusizza mu ddoboozi, tegeera mangu nti essaawa mulindwa yatuuse dda. Munno kasita atandika okwogera mu kaama oba okunanaagira mu by’ayogera tomulumya, muyambeko mukwatagane, otaase embeera.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.