TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bya Mpuna! Olubuto lwe nnina ssi lwa baze lwandiba olw'owa Boda

Bya Mpuna! Olubuto lwe nnina ssi lwa baze lwandiba olw'owa Boda

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2019

Engeri gye nnali awaka ssaali mu mpale ya munda era yayanguyirwa okukola kye yali ayagala.

Ssengalogo 703x422

Ssenga nsobeddwa. Ndi mukazi mufumbo nga twakazaala abaana basatu ne baze.   Waliwo omulenzi wa bodaboda gwe tutera okutuma okuleeta ebintu awaka.

Amanyi okusaaga nange era waliwo lw’agamba nti ssinga ssaali muka bboosi nti yanding’ambyeko kuba mussa amaddu.

Buli lw’abadde abyogera nga nneesooza nga mugamba nti nja kumuloopayo.

Emyezi ng’esatu emabega waliwo akameeza ke nabajjisa nga njagala kukateekako bintu mu kisenge kyange.

Omubazzi olwakamaliriza n’ankubira essimu bakakime nange ne ntumayo omuvubuka ono owa bodaboda gwe tuyita Ben.

Awaka yansangawo nzekka ng’abaana bagenze ku ssomero ate nga n’omukozi yali agenze kuziika ewaabwe engeri gye yali afiiriddwa.

Olwakayingiza n’ambuuza gye kalaga kwe kumugamba nti ka mu kisenge kyange. Olwakatuusa mu ddiiro ne mugamba akateeke ku mulyango gw’ekisenge nja kukayingiza.

Yambuuza nti asituza atya bboosi akameeza nga ye waali.

Naggulawo ekisenge akayingize kyokka mbeera ntegula ebintu mu kifo awookukassa, Ben yanvumbagira n’ammegguza ku kitanda.

Engeri gye nnali awaka ssaali mu mpale ya munda era yayanguyirwa okukola kye yali ayagala. Kati wayise emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga era bwe bankebedde nasangiddwa ndi lubuto.

Mu kubala, olubuto lulabika si lwa baze kati binsobedde ate ntya okuluggyamu. Ssenga nkole ntya.

 

Mwana wange ekisooka sitegedde oba naawe Ben omwagala kuba tolaga nti wagezezzaako okweranako ng’akukaka akaboozi. Ennaku zino abakazi bazaala abaana mu maka kyokka ng’abaana abamu si ba nnyinimu.

Kati wuuyo ogenze kufuna lubuto. Ekibi weesembereza nnyo omuvubuka ono ndowooza naye naalaba nti ne bw’akukaka omukwano toyinza kumulemesa.

Ggwe omukazi omufumbo okkiriza otya owa bodaboda okukuwaana nga bw’omussa amaddu! Kati omwana bw’anaazaalibwa nga tafaanana baana ba waka onookola otya.

Ye abaffe ennaku zino abasajja beekengera abaana abamu ne batuuka n’okubatwala okubakebera omusaayi! Kati watya ng’omuzadde n’amwekengera n’asalawo okumukebera omusaayi.

Olaba omusajja bwe yeecanga n’akugoba n’awaka. Naye nga mu mazima ddala Ben asobola okukutwala ewuwe n’ofumba.  Bawala bange mulina okwewala ensobi nga zino.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.